TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abavubuka ba DP basatu bakwatiddwa ku bya Bobi Wine

Abavubuka ba DP basatu bakwatiddwa ku bya Bobi Wine

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2019

Abavubuka ba DP basatu bakwatiddwa ku bya Bobi Wine

Jip1 703x422

Ab aserikale abayiiriddwa ku ofiisi z’abavubuka ba DP oluvannyuma lw’okubakwata.

POLIISI ekutte abavubuka ba Uganda Young Democrate (UYD) basatu ababadde batwala ekiwandiiko ekiwakanya okugana ebivvulu by’omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu n’okumusibira mu maka ge.

Abakwatiddwa kuliko Robert Mugambwa, Robson Kijjambu ne Dennis Muhanwa nga bano okukwatibwa kyaddiridde okuyita olukuhhaana lwa bannamawulire ku ofiisi zaabwe ku London Chambers ku Johnson Street okwogera ku bikolwa bya poliisi eby’okulinnyirira eddembe ly’obuntu okuli ne Bobi Wine.

Timothy Simba omu ku bakulembeze yategeezezza nti bagenze okutuuka ku ofiisi zaabwe ng’abaserikale baayiiriddwa dda mu kifo kyonna era baabadde baakatandika okwogerako ne bannamawulire abaserikale ne bakwata bannaabwe ne babakunguzza okubatwala ku CPS. Yayongeddeko nti baabadde balina ekiwandiiko kye batwala ku CPS nga baagala poliisi ebannyonnyole omusango gw’evunaana Bobi Wine.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana