TOP

Ebya dokita gwe basse bikyalanda

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2019

Ebya dokita gwe basse bikyalanda

Gab2 703x422

POLIISI y’e Kabalagala yagenze n’eggya sitatimenti ku muka landiroodi w’omugenzi Dr. Catherine Agaba, mu kaweefube w’okuzuula ebikwata ku nfa y’omugenzi.

Omu ku baserikale e Kabalagala yannyonnyodde nti muka landiroodi baamutuukiridde ne bamunnyonnyola nga bwe kyabadde kyetaagisa okumuggyako sitatimenti era n’akkiriza n’addamu buli kibuuzo obwedda kye bamubuuza.

Ensonda ku poliisi e Kabalagala zaategeezezza nti muka landiroodi yannyonnyodde nti abadde talina mpalana yonna na mugenzi Dr. Agaba nti naye yatandise kuwulira byogerwa ng’omuntu amaze okufa nti babadde n’obutategeeragana.

EYAKWATIDDWA AZZEEMU OKYUSA SITATIMENTI

Omuvubuka Ken Ronald Obangakene azze akyusakyusa sitatimenti okuva lwe yakwatibwa, ng’annyonnyola engeri gye yattamu omugenzi. Kino kituusizza abeebyokwerinda ku kulowooza nti omuvubuka ono teyali yekka, era bakyalina bingi bye balina okuzuula ku ttemu lino.

Sitatimenti z’omutemu zitambula bwe ziti: 1. Obangakene agamba nti dokita bwe yakonkona n’amuggulira, bwe yayingira n’amugwa mu bulago n’amutuga, omulambo n’akunyugunya mu kinnya kya kazambi n’akibikkako.

2.Mu sitatimenti eyookubiri, Obangakene agamba nti dokita bwe yakomawo, n’amuggulira, yali yaakayingira n’amuva emabega n’amukwata akabadiya n’amutta.

Mu kaseera ako mmotoka yajja ku geeti, n’asooka awalula omulambo n’agukweka emabega w’eryato ery’omulembe eriri mu kikomera omwo. Oluvannyuma yagenda n’aggulawo geeti mmotoka bwe yayingira, n’akomawo ku mulambo n’aguwalula n’agusuula mu kinnya kya kazambi. Bwe waayitawo akaseera, yaddayo ku kinnya n’akizuula nti omugenzi yali tannafa yali akyasamba.

Yamukwata n’amwambulamu empale empanvu gye yalimu n’agimutugisa n’amumaliriza omulambo n’aguzza mu kinnya.

3. Mu sitatimenti eyaakasembayo, Obangakene agamba nti dokita bwe yakomawo, yamuyita n’aggulawo geeti bwe yayingira, n’abaako by’amutuma ku dduuka.

Obangakene bwe yakomawo ku dduuka, n’atwalira dokita ebintu bye yali amutumye mu nnyumba. Bwe yatuuka mu ddiiro, Obangakene yategeeza dokita nga bwe yali aleese ebintu bye yamutumye.

Dokita yamulagira abimuteere ku mmeeza agende. Wabula Obangakene agamba nti bwe yatunula mu kisenge, oluggi lw’ekinaabiro terwali luggale n’alengera dokita ng’anaaba.

Wano we yafunira ekirowoozo n’amulumba n’amuvumbagira n’asooka n’amusobyako. Oluvannyuma yamutugumbula, omulambo gwe n’agukulula n’agufulumya ebweru n’agusuula mu kinnya kya kazambi.

Olw’obutakwatagana kwa sitatimenti zino, abeebyokwerinda kwe basinziira ne bagamba ntgi Obangakene alina omuntu gw’azibira, eyamutuma okukola ekikolwa kino gwe balina okunoonya bazuule

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.