TOP

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2019

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Got1 703x422

ENTIISA ebuutikidde abatuuze mu kabuga k’e Kijjabwemi mu kibuga Masaka, mutuuze munnaabwe William Bill Ochen 22, ng’abadde musawo mu kalwaliro ka Zulaika Medical Clinic, abavuzi ba bodaboda bwe bamukkakkanyeeko ne bamukuba ne bamutta. Ochen ng’azaalibwa mu disitulikiti y’e Serere okuttibwa yabadde agenze mu lumbe ku kyalo Bisanje mu ggombolola y’e Kabonera okuziikirako muliraanwa we.

Kino kiddiridde okumuteebereza okubeera mu lukwe lw’okutta Fahad Nsereko ne bamubbako pikipiki mu kiro ekyakeesa Olwomukaaga ku ssaawa nga 3:00 ez’ekiro mu bitundu bye Kako.

Matia Kabutu eyatutte omusawo mu lumbe yategeezezza nti bwe yamutuusizza n’ayingira mu nnyumba okulaba ku mufu nga ye amulinze okumuzzaayo e Kijjabwemi akole ku balwadde.

Yayongeddeko nti oluvannyuma lw’eddakiika nga 8 yagenze okulaba omukyala ava mu nnyumba nga yeesansabaga nti omutemu tumukutte era yagenze okuwulira oluyogaano emmanju n’alingizaayo yagenze okulaba nga musawo ali mu kulaajana nga bwe yeewozaako kyokka engeri gyabadde tamanyi Luganda tebaamuwuliriza ne batandika okumukuba. “Nnavuze pikipiki okudda e Kijjabwemi okutegeeza bannange embeera musawo gye yabaddemu.

Twafunye emmotoka ne tuddayo e Bisanje kyokka olw’abadde okutuuka ku kkubo kumpi n’olumbe amaaso tw’agakubye ku mulambo ensisi kata etutte”. Omulala eyeerabiddeko (amannya gasirikiddwa) agamba nti embeera eno yavudde ku Ochen kuyingira mu nju okukuba ku mufu eriiso evvannyuma ate ng’akaseera kaabadde k’akwetegekera kumutwala kumunaaza nga tewakyali akkirizibwa, ono olw’abikkudde ku mulambo oluyoogaano we lwatandikidde nti omutemu wuuno yeereese.

Baatandise okumusoya ebibuuzo nga tasobola kubyanakula olw’olulimi kubanga amanyi Luzungu na Luteso lwokka ate ga tamanyiddwa na mu kitundu. Ekyaddiridde aba bodaboda kwesogga nju ne bamusikambulayo ne bamukuba okutuusa lwe baamusse. Poliisi okuva e Masaka yayitiddwa bukubirire okutaasa obulamu bwe kyokka yasanze mulambo era baaguggyeewo ne bagutwala mu ddwaaliro e Masaka okw’ekebejjebwa.

Zulaika Namugenyi nnannyini kalwaliro kano yategeezezza Bukedde nti Ochen yamusabye okugenda okuziika oluvannyuma lwa mukwano gwe okumukubira essimu ng’amubikira era n’amukkiriza kyokka eriiso lye yasembye okumukubako ng’asimbula ku ssaawa nga 6:30 lye lyakomye ekyaddiridde kufuna ssimu ku ssaawa nga 8:00 ng’emubikira.

Yagambye nti ku lunaku Nsereko lwe bagamba nti lwe yattibwa, Ochen yali ku ddwaaliro okuva ku makya okutuuka ku ssaawa 5:00 ez’ekiro we baggalirawo eddwaaliro. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino, Lameck Kigozi yakakasizza obutemu buno era n’avumirira enkola y’okutwalira amateeka mu ngalo. Yagambye nti bakyanoonyereza okuzuula abaakoze obutemu buno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.