TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2019

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Sab2 703x422

Asantehere Otimufuo Osei Tutu ng"abuuza ku Nnaalinya Lubuga Dr Nabaloga

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II ayozayozezza Asantehene Osei Otumfuo Tutu II olw’okuweza emyaka 20 ng’akulembera abantu mu Bwakabaka bwa Asante mu Ghana.

Kabaka yawerezza ekibinja eky’amaanyi e Ghana nga kyakulembeddwamu Nnalinya Lubuga Dr. Agnes Nabaloga, Omumbejja Joan Nassolo n’omukungu David Ntege,akola ku nsonga z’abagenyi mu Bwakabaka bwa Buganda.

Mutebi II yasiimye, Tutu II olw’okutumbula enkulakulana mu bantu be ng’ayita mu kunyweza obukulembeze obw’ennono mu kitundu kino. Obwakabaka bwa Asante bwe bumu ku businga obugagga ku lukalu lwa Afirika. Buno butudde ku ky’obugagga kya Zaabu n’ebyobugagga eby’omuttaka ebirala ntoko.

Ku bijjaguzo by’amatikkira Jubireewo ebya Kabaka Mutebi II omwaka oguwedde, Tutu II yeyali omugenyi ow’enjawulo ku mikolo gino egyaliwo mu July 2018.

Omukolo gw’okujjaguza emyaka 20 egya Tutu II gyabaddewo ku Ssande April 21,2019 nga gyabadde mu Lubiri lwe olusangibwa e Manhyia mu kibuga Kumasi e Ghana esangibwa mu bugwanjuba bwa Afrika. Gwetabiddwako n’omukulembeze wa Ghana Nana Addo Dankwa Akufo- Addo n’abakulembeze okuva mu mawanga amalala.

Ebikujjuko bino byabadde byamaanyi ddala ng’omukolo guno gwatandise ku ssaawa mukaaga ez’emisana negukomekkerezebwa mu matumbi budde anti Asantehene yagabudde abagenyi be ekijjulo makeke.

Mu kwogera kwe Tutu II yebazizza abagenyi be abavudde mu mawanga ag’enjawulo nategeza nti kano kabonero akalaga obukulu bw’obukulembeze bw’ennono mu kukulakulanya amawanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600