TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakulembeze b'abasuubuzi 2 basindikiddwa Luzira

Abakulembeze b'abasuubuzi 2 basindikiddwa Luzira

By Joseph Mutebi

Added 26th April 2019

Bakwatiddwa nga April 24, 2019 mu kibuga wakati nga kigambibwa nti baabadde bakung’aanye mu ngeri etasaana, gye beeganyi.

Basuubuziatcourtbyjmutebi3 703x422

Godfrey Katongole (ku kkono), Owen Ahimbisibwe ne Abas Mpanga (ku ddyo) nga basimbiddwa mu kaguli ku kkooti ya Buganda Road.

ABAKULEMBEZE b’abasuubuzi  mu akeedi z’omu Kampala batuuyanidde mu kkooti ku Buganda Road babiri ku baasindikiddwa Luzira ate abasatu ne beeyimirirwa ku kakalu kaayo.

Baakwatiddwa ku Lwokusatu mu kibuga wakati nga beekalaakasa. Omu ku bo Edward Ntale yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka, Esther Nahirya ku Buganda Road n’amusomera omusango gw’okweyisa mu ngeri etasaana mu bantu era n’amusindika e Luzira okutuusa nga May 7, 2019.

Ku Lwokuna emisana Habib Buwembo naye yatwaliddwa mu kkooti ya Buganda Road n’asanga ng’omulamuzi taliiwo ne bamusindiika e Luzira okutuusa nga May 8, 2019 ate Godfrey Katongole, Owen Ahimbisibwe ne Abas Mpanga baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Robert Mukanza ne babasomerwa omusango gwe gumu okweyisa mu ngeri etaasana.

Omulamuzi yabakkiriza okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti ku bukadde bubiri ezitali za buliwo ate abaabeeyimiridde nabo ne bateekebwako akakalu ka bukadde buna ezitali za buliwo gattako kkooti okusigaza endagamuntu zabwe okutuusa ng’omusango guwedde.

Bakwatiddwa nga April 24, 2019 mu kibuga wakati nga kigambibwa nti baabadde bakung’aanye mu ngeri etasaana gye beeganyi. Bagambibwa okubeera nga babadde baagala okutwala ekiwandiiko kyabwe ew’aduumira poliisi, Martin Okoth Ochola nga beemulugunya ku ngeri bannannyini bizimbe gye babayisaamu.

Loodi meeya Erias Lukwago omu ku balooya b’abawawaabirwa yagambye nti okukwatibwa kw’abasuubuzi bano kwabaddemu abagagga ba Qualicell Bus Terminal, Nabukeera Plaza ne Jamboli nga bagenderera okutiisatiisa abasuubuzi bave mu misango gye baabawaabira mu kkooti okuli gwe basaba kkooti ekkirize bateekewo akawunti ey’awamu kwe baba bateeka ssente z’obupangisa okutuusa ng’emisango gyonna giweddeyo mu kkooti.

Wabula ye maneja wa Mansoor Matovu [Yanga] omu ku bannannyini bizimbe bino yagambye nti ebyokukwatibwa kw’abakulembeze b’abasuubuzi tebalina kye babimanyiiko. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....

Send 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

NZE Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”