TOP

Jennifer Musisi ayogedde bwe yasimattuka bbomu

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2019

EYALIKO Dayirekita wa Kampala, Muky. Jennifer Musisi Ssemakula, kyaddaaki ayogedde ekyama ekyamulesaawo omulimu ogwali gumusasula obuwanana.

Kccaedjennifermusisi 703x422

Jennifer Musisi

Yasinzidde mu Amerika, mu kifo ekiyitibwa Ash Centre, ku yunivasite ya Harvard n’ategeeza nti waliwo olukwe olwali lukoleddwa bamuttise bbomu kyokka n’asimattuka olw’ekisa kya Katonda.

Musisi oluvannyuma yaweebwa omulimu ab’ekibiina kya ‘Bloommberg Harvard City Leadership Initiative’ ekiri wansi wa yunivasite ya Harvard, mu Amerika.

Musisi agamba nti bwe yaweebwa obuvunaanyizibwa okukulira Kampala, ebikolwa ebikyamu omwali obuli bw’enguzi, n’obukulembeze obubi, byali bimaamidde ekibuga era y’ensonga lwaki yasalawo okubaako b’anyiiza ng’akola emirimu gye kubanga yakizuula ng’abantu bangi abaali baganyulwa mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka n’enzirukanya embi ebyaliwo mu kibuga mu biseera ebyo.

Musisi yayongeddeko nti teyamanya nti wakati mu kulongoosa ekibuga ate waaliwo abaali bamulaba obubi ne batuuka n’okwagala okuggyawo obulamu bwe.

“Nzijukira lumu nasanga bbomu ey’ekika kya ‘Grenade’ nga bagitadde mu mmotoka yange. Natya nnyo nga neewuunya abantu gye baggye obusungu bwe butyo ne batuuka n’okwagala okuggyawo obulamu bwange!” Musisi bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti mu 2017, yayongera okufuna okutiisibwatiisibwa okuva mu bantu kinnoomu, kyokka nga abeebyokwerinda tebalina kye bakolawo bwatyo ne yeeyongera okutya.

“Abamu ku bantiisatiisanga bankubiranga amasimu n’okunsindikira obubaka ate abalala nga basinziira ku mikutu gy’amawulire egyenjawulo okuli leediyo nga banneewerera.

Teebereza waliwo n’abeekalakaasa nga basitudde kkeesi y’abafu ne bateeka ekifaananyi kyange ku ngulu ng’eno bwe bajaganya nti nfudde naye Katonda wonna n’ambeererawo okutuusa kati,” Musisi bwe yagasseeko.

Mu kiseera Musisi we yaweerwa obwannankulu kyazuulibwa nti KCCA yalina akawunti za bbanka ezitamanyiddwa 151, nga ziriko obukadde bwa doola za Amerika 13, kyokka nga mu kiseera ekyo ssente ezaali zikuηηaanyizibwa wonna awamu mu misolo zaali obukadde bwa doola 11, buli mwaka.

MUSISI ALEKULIRA:

Mu October 2018, Musisi yawandiikira Pulezidenti Yoweri Museveni ebbaluwa ng’alaga nti alekulidde obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya ekibuga Kampala obwamuweebwa okuva mu April 2011.

Ono ebbaluwa erekulira yagiwaako ne minisita wa Kampala Beti Namisango Kamya, oluvannyuma gwe yakwasa obwali obuvunaanyizibwa bwe bwonna bwe baali tebannalonda amuddira mu bigere.

Ekiseera we yalekulira kontulakiti ya Musisi yali yaakazzibwa obuggya omulundi ogwokubiri nga yali yaakuggwaako mu April, 2020.

PETER KAUJU ANNYONNYODDE

Kauju agamba nti ensonga eno yategeezebwa Poliisi bwe yali yaakagwawo era ne basindika basajja baabwe abakugu mu by’okutegulula bbomu.

“Enanga yeetaaga abuuze banne ku nsonga eno kubanga omusango gwaloopebwa ku Poliisi ya CPS mu Kampala, era okunoonyereza ne kutandika lwakuba tetumanyi gye byaggweera,”Kauju bw’agamba.

POLIISI EYOGEDDE:

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yategeezezza nti, bagenda kukwatagana n’abaserikale baabwe abakolera wansi w’ekitongole kya KCCA nga bakulemberwa, Kituuma Rusoke, balabe oba ensonga eyogerwako yali ebaddewo.

“Twewuunyizza nnyo bwe tusomye ku mikutu gya yintanenti egy’enjawulo ng’eyaliko Nnankulu wa Kampala, Muky. Jennifer Musisi Ssemakula, ategeeza nga bwe yasimattuka bbomu eyali etegeddwa ku mmotoka ye nga baagala okumutta!” Enanga bw’agamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...