TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Kim owa Korea asse 4 lwa kuguza Amerika byama

Kim owa Korea asse 4 lwa kuguza Amerika byama

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2019

OMUKULEMBEZE wa North Korea, Kim Jong un 35, ataamye n’atirimbula abakungu bana aba Minisitule ey’ensonga Ezeebweru.

Baba 703x422

Putin (ku ddyo) ng’abuuza ku Kim Jong.

Yalagidde basindirirwe amasasi mu lujjudde ng’abalanga okusomolera Amerika ebyama by’eggwanga.

Emikutu gy’amawulire egyenjawulo mu Russia, Amerika ne South Korea gyategeezezza nti Kim Jong un okuva mu mbeera n’alagira abakungu abo okukubwa amasasi mu lujjudde kyaddiridde enteeseganya wakati we ne Pulezidenti wa Amerika Donald Trump ezaali mu February 2019 okugwa obutaka.

Omukutu gw’amawulire ogwa ‘Chosun libo’ ogw’omu South Korea gwategeezezza nti abakungu bana baasimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bawozesebwa mu ngeri ey’ekimpatiira, omusango gw’okusomola ebyama by’eggwanga ne gubakka mu vvi.

Baavunaaniddwa okubbira Amerika ebyama bya North Korea ekigambibwa nti kye kyavaako akafubo ka Trump ne Kim Jong Un akaategekebwa mu kibuga Hanoi ekya Vietnam okugwa obutaka, olwa Kim okugaana okussa omukono ku biwandiiko Trump bye yali amuteze.

Bwe yaddayo mu North Korea, Kim kwe kukizuula nti waliwo abakungu bana aba Minisitule ye ey’ensonga z’ebweru, Amerika be yawa ssente ne bagisomolera ebyama, kwe kuwa ebiragiro ne bawozesebwa mu bwangu emisango ne gibakka mu vvi ne babakuba amasasi mu lujjudde.

Omukolo ogw’okubakuba amasasi, abakungu okuva mu kibiina ekiri mu buyinza ekya Workers’ Party of Korea ne bannamagye okuva mu ggye ly’eggwanga erya Korean People’s Army baagubaddeko.

Guno ssi gwe mulundi ogusoose Kim okuwa ebiragiro eby’okutirimbula abakungu ba gavumenti mu ngeri etyoboola eddembe lyabwe ery’okufuna okulamulwa okuli mu mateeka.

Mu 2014, Kim yatta famire nnamba eya bba wa ssenga we, Gen. Jang Song-thaek eyattibwa mu bukambwe nga yasooka kwambulwamu ngoye zonna n’asigala bukunya ne bamusuula mu lwebeeya lw’embwa nga 140 ne zimulya nga mulamu.

Gen. Jang Song-thaek yattibwa n’abaana be, baganda be, abazzukulu n’abooluganda abalala bonna ku biragiro bya pulezidenti Kim Jong-un. Gen. Jang ye yali bba wa ssenga wa Kim Jong-Un, ayitibwa Kim Kyong-hui, ng’okuttibwa kigambibwa nti Kim Jong Un yamulanga kumunyooma n’okumuleetako akamanyiiro buli lwe baabeeranga mu nkiiko.

KIM JoNG UN ASISINKANYE PUTIN

Amawulire ga Kim Jong Un gaafulumye ku lunaku lwe yatuuse mu Russia okusisinkana Pulezidenti wa Russia, Vladimir Putin mu kafubo akaategekeddwa mu ngeri ey’okusoomooza Amerika nti ssi ye yokka North Korea gy’etunuulidde.

Akafubo ka Putin ne Kim kaategekeddwa ku kizinga ky’e Vladivostok wakati mu kwerinda okw’amaanyi waggulu mu bwengula, mu mazzi ne ku ttaka.

Putin ne Kim baalagiddwa nga bateetera ng’omugole omukazi n’omusajja ku mbaga yaabwe.

Mu kwogera kwe, Putin yagambye nti North Korea okusaanyawo ebyokulwanyisa by’amaanyi ga nukiriya nayo eteekeddwa kumala kufuna obukakafu nti ebyokwerinda byayo tebiri mu katyabaga.

Yakiggumizza nti okukola ku byokulwanyisa bya North Korea, kyetaagisa kuyita mu mateeka ag’ensi yonna so si nsi emu kusalawo kubanga kirimaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.