TOP

Bannamagye abalala balekulidde e Sudan

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2019

BANNAMAGYE b’omu Sudan abaawambye obuyinza bakyalemeddwa okwenywereza mu ntebe gye baggyeemu Pulezidenti Hassan Omar al-Bashir kati atemeza emabega w’emitayimbwa olw’akazito abantu baabulijjo ke bongedde okubassaako.

Kala 703x422

Abeekakakaasi nga bali ku nguudo e Sudan.

Akazito abantu baabulijjo ke batadde ku bannamagye katuusizza abamu ku bagenero abali ku kakiiko akafuzi okusuulawo ebifo byabwe ne beegatta ku Lt. Gen. Ahmed Awad Ibn Auf 65 eyasooka okulayizibwa nga Bashir yaakawambibwa kyokka entebe n’emwokya n’agiddukamu nga tannagiwezaamu wadde olunaku olulamba.

Obuyinza bannamagye baabuwamba ku Bashir nga April 11, 2019 ne bassaawo akakiiko k’amagye akafuzi akayitibwa Military Transitional Council (MTC) nga kaliko bagenero 10 abakulirwa Lt. Gen. Abdel Fattah Abdelrahman Burhan.

Kyokka abantu baabulijjo bagaanyi enfuga ey’amagye era bakyagenda mu maaso n’okwegunga nga bawakanya ebyalangirirwa bannamagye nti bagenda kuwaayo obuyinza mu bantu baabulijjo mu myaka ebiri.

Ku Lwokuna, abakulembeze b’abeekalakaasi abeegattira mu bibiina; ekya Sudanese Professionals’ Association (SPA) ne Alliance for Freedom and Change, baasisinkanye bannamagye abeewahhamya mu buyinza ne babanjulira bye beetaaga oba ssi ekyo bagenda kukunga abantu abasoba mu kakadde babalumbe nabo babatwalaganye nga bashir.

Mu kukkakkanya abantu, Lt. Gen. Abdel Fattah Abdelrahman Burhan akola nga Pulezidenti wa Sudan yakkirizza obumu ku bukwakkulizo bw’abeekalakaasi omwabadde n’okussaawo akakiiko ak’awamu akagenda okukola ku nteekateeka ez’okuzza obuyinza mu nfuga ey’abantu baabulijjo.

Mu kafubo ako, abantu baliko bagenero be beemulugunyizzaako nti be bamu abaali abasaale mu ku bakubamu amasasi agatta bannaabwe abasoba mu 200 ne basaba baggyibwe ku kakiiko k’amagye akafuzi n’enteekateeka zikolebwe okubaggulako emisango.

Bagenero basatu be balumiriza baabano:

Bagenero abaasongeddwaamu ennwe ye: Lieutenant General Omar Zain al- Abdin, Lieutenant General Jalaluddin Al-Sheikh ne Lieutenant General Al- Tayieb Babikir era bano baalekulidde ebifo byabwe ku kakiiko akafuzi.

Ssentebe w’akakiiko k’amagye , Lt Gen Abdel Fattah Abdelrahman Burhan yakkirizza okulekulira kwabe era kino kyakkakkanyizza abeekalakaasi wabula baasabye nti bagenero abo naddala Lieutenant General Jalaluddin Al- Sheikh basimbibwe mu kkooti bavunaanibwe emisango egy’okutta abantu.

Omwogezi wa gavumenti ya bannamagye, Lieutenant General Shamseddine Kabbashi, yategeezezza nti ensonga ezisinga abantu ze baayanjulidde akakiiko k’amagye zikoleddwaako n’agamba nti okulekulira kw’abamu ku baakakiiko k’amagye akafuzi kye kimu ku byasabibwa abeekalakaasi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Youngmulo 220x290

Akabinja ka Young Mulo kabadde...

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Siiga 220x290

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki...

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba...

Yomba1 220x290

Aba Flying Squad bakutte omulala...

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku...

Dybala 220x290

Juventus etaddewo obukwakkulizo...

ManU eyagala kugula Dybala wabula Juventus egamba nti erina okutuukiriza obukwakkulizo bwonna bw'eba yaakumutwala....

Temu 220x290

Alondodde mukazi we gye yanobera...

OMUSAJJA alondodde mukyala we gye yanobera n’amusala obulago n’amutta ng’amulanga kumukyawa.