TOP

Basonze obukadde 39 eza mmotoka y’e Namugongo

By Musasi wa Bukedde

Added 29th April 2019

Basonze obukadde 39 eza mmotoka y’e Namugongo

Tim2 703x422

Ven. Isaac Kijjambu (ku kkono), Kityo Luwalira ne Dr. Stephen Kazimba.

Okusaba okwategekeddwa Obulabirizi bw’e Namirembe kwe kwakulembedde okukuza olunaku lw’abajulizi nga June 3. Ku mukolo guno Abakrisitaayo baasonze ensimbi obukadde 39 mu buliwo okugula mmotoka y’ettendekero ly’abaawule e Namugongo.

Omukolo gwatandise na kusaba okwakulembeddwa Omulabirizi w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira n’Omulabirizi eyawummula Jackson Matovu. omulabirizi w’e Mityana, Dr. Stephen Kazimba ye yabuulidde.

Dr. Kazimba yasabye Abakrisitaayo okwagala n’okuwagira ebyabwe nga bajjukira nti buli omu Katonda yamuwa ekirabo eky’enjawulo ky’alina okukozesa okumuweereza n’abantu abamwetoolodde. ‘’Ffenna tuli baana ba Katonda, tujja kugenda naye bye tukoze bisigale ku nsi,’’Dr. Kazimba bwe yategeezezza.

Yasabye Abakristitaayo okukomya obukyayi ku buweereza ba mukama wabula babeeyambise okukola emirimu gye n’okumanya nti baliwo kiseera buseera. Yagambye nti abakrisitaayo abamu bagaanyi okukola emirimu gya mukama olw’obukyayi bwe balina ku baweereza nga beerabidde nti baliwo kiseera buseera.

Yabasabye okwegatta n’okukolera awamu okuzimba obwakabaka bwa Katonda. Yennyamidde olw’Abakrisitaayo abatalabirira babuulizi ba njiri n’abaweereza ba mukama. ‘‘Kyewuunyisa okulaba ng’abasamize n’abenzi batambulira mu mmotoka ez’ebbeeyi kyokka ng’abaweereza ba mukama batambuza bigere, abakristitaayo ne batalaga kufaayo kwonna.

Oluvannyuma omulabirizi Kazimba yakulembeddemu omulimu gw’okusonda ssente obukadde 80 ez’okugula kosita ya seminaliyo ye Namugongo. Yayambiddwaako Rev.Samuel Muwonge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...