TOP

Abaasimattuka akabenje e Bukoto basiibuddwa

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 29th April 2019

Abaasimattuka akabenje e Bukoto basiibuddwa

ABANTU abaatomerwa mu kabenje k’e Bukoto wiiki ewedde baasiibuddwa nga mu ddwaaliro wasigaddeyo omu.

Margaret Namusisi eyasigaddeyo ye yasinga okuyisibwa obubi mu magulu oluvannyuma lw’emmotoka ya takisi mwe yali atudde okugamenya ng’abadduukirize bagezaako okumutaasa.

Akabenje kano kaalumya abantu 30, basatu ku bo ne bafiirawo oluvannyuma lwa loole ekika kya Ford nnamba UAA 497L eyali eva ku ludda lw’e Bukoto okuyingira ekibuga bwe yalemerera omugoba waayo ku bitaala okumpi ne poliisi ya Kira Road n’etomera emmotoka munaana ne pikipiki ttaano.

Abaalumizibwa baddusibwa mu ddwaaliro e Mulago. Abalumiziddwa kuliko: Precious Nahabwe ow’e Kyebando, Ismail Kiwujjo ow’e Bulenga, Ronald Wamala ow’e Budo, Asuman Buziwane ow’e Gayaza, Serunkuuma ow’e Nateete, Muhammed Elhan ow’e Kira, David Ochaya ow’e Mutungo, Deborah Nakambadde ow’e Kawempe, Yasin Mutyaba ow’e Nabbingo, Gorret Aparo, Annet Nazziwa ow’e Najjeera, Hassan Ochaya ow’e Kiwaatule n’abalala. Abafudde kuliko Anthony Kasadha ow’e Kyengera, Phillip Musimenta ow’e Kira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke