TOP

Owa NRM asisinkanye bankubakyeyo

By Ahmed Mukiibi

Added 29th April 2019

Owa NRM asisinkanye bankubakyeyo

Pk1 703x422

Omona (mu ssaati enjeru) ne bankuba Kyeyo. Mu kyenvu ye Walusimbi

OMUMYUKA w’omuwanika w’ekibiina kya NRM Dr. Omona Kenneth Olusegun asisinkanye Bannayuganda abakolera mu mawanga ageebweru ne bakkaanya ku ngeri gye basobola okuyambibwamu mu nteekateeka zaabwe ez’okwekulaakulanya n’ekibiina kya NRM.

Akulira ba NRM ababeera ebweru w’eggwanga Hajji Abbey Kigozi Walusimbi yakulembedde bammemba be okuva mu Amerika, Canada, Bungereza, Turkey, Thailand, Denmark, China n’amawanga amalala ne basisinkana Dr. Omona ku kitebe kya NRM mu Kyaddondo Road e Nakasero Mu kafubo kaabwe, Dr. Omona yakkaanyizza ne bankubakyeyo nti NRM erina okussaawo enkola ey’okumanya abantu bonna abali mu mawanga ageebweru nga bawandiisibwa n’oluvannyuma bayambibwe mu nteekateeka ez’okusitula ekibiina n’okukulaakulanya eggwanga lyabwe.

Dr. Omona yagambye nti mu nteekateeka eyo, Bannayuganda bonna abali mu mawanga ageebweru naddala ag’omu Asia bagenda kulondoolwa okumanya bye bakola n’okufaayo okubayamba mu bizibu bye basanga nga bali ku mawanga.

Kyakkaanyiziddwaako nti Ssaabawandisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba nti bagenda kumukolera enteekateeka ez’okutalaaga amawanga ageebweru okusisinkana abawagizi ba NRM ne Bannayugada bonna okumanya ebizibu byabwe.

Hajji Walusimbi yasiimye obukulembeze bw’oku kitebe kya NRM naddala okufulumya pulogulaamu egenda okugobererwa mu kwetegekera akalulu ka 2021 n’agamba nti pulogulaamu eyo nabo ababeera ebweru w’eggwanga bagenda kugyenyigiramu.

Omuyambi wa Pulezidenti ku kulwanyisa obwavu, Hellen Namutamba, yawadde bankubakyeyo amagezi ku ngeri gye bayinza okusiga ssente zaabwe mu Uganda ne bafunamu ne gavumenti neganyulwamu Edriss Kironde avunaanyizibwa ku by’amawulire yasabye gavumenti okuggulawo ebitebe mu mawanga gonna Bannayuganda gye bakolera basobole okuyambibwa nga bakola emirimu gyabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Patu 220x290

'Twagala Mityana eyegombesa'

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki...

Pro 220x290

Ddala kiki ekyasse omugagga wa...

OBULWADDE obwasse omutandisi w’essomero lya Kabojja Junior School, bwasooka kucankalanya lubuto, aba famire ne...

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...