TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bukedde atongozza ‘Pass PLE Club’ ku ssomero lya Karen

Bukedde atongozza ‘Pass PLE Club’ ku ssomero lya Karen

By Musasi wa Bukedde

Added 29th April 2019

Bukedde atongozza ‘Pass PLE Club’ ku ssomero lya Karen

Lip2 703x422

Margaret Nankinga mu kutongoza kiraabu.

ESSOMERO lya Karen Kindergarten and Primary School e Ndejje Kibutika lye libadde essaale okuganyulwa mu nkola ya Bukedde ey’okuggulawo kiraabu za Pass PLE (PLE Clubs) mu masomero.

Mu nkola eno, abayizi ba P7 bakozesa akatabo ka Pass PLE akafulumira mu Bukedde buli Mmande ne beddiramu ebibuuzo. Mmande eddako mwe mubeera ansa z’ebya wiiki ewedde. Olwo abasomesa ne basinga kubayambako nga babawabula ku nnamba eziba zibakaluubiridde.

Pass PLE- katabo akabaamu ebibuuzo ne ansa ebigenderera okuteekateeka abayizi ba P7. Kiyamba nnyo abayizi okutandika okubiddamu mu P6. Ebibuuzo bibaweebwa abasomesa abakugu abeegatta basatu buli ssomo (subject) okuli Olungereza, Social Studies, Sayansi n’okubala. Bukedde omuli Pass PLE asobola okugulibwa omuzadde oba essomero ku 1,000/- zokka buli kkopi.

Kiraabu y’essomero lya Karen yatongozeddwa avunaanyizibwa ku pulojekiti za Bukedde, Muky. Margaret Nankinga ku Lwokutaano. Yalaze emigaso gya kiraabu eri omuyizi n’omusomesa.

EMIGASO GYA ‘CLUB’ l Yategeezezza nti mu kukubaganya ebirowoozo abayizi bongera okutegeera bye baabasomesa bye basanze mu lupapula lwa PASS PLE. Mu nkola eno abanafu bayambibwa bulungi abo abakola obulungi kubanga baba bakozesa olulimi lwe bategeera ate nga bannaabwe tebabatya nga bwe kiba ku musomesa.

l Mu kubeera mu kiraabu abayizi bafuna obuvunaanyizibwa okunoonyereza ku bibuuzo ebibeera mu katabo ka PASS PLE okulaba nga babituuka.

l Abayizi bayiga okukolaganira awamu okulaba nga ekibinja kyabwe kisukkuluma ku kibinja ekirala ekiri mu kiraabu.

l Olw’okuba buli muyizi alina okuweebwa omukisa okwogera nga bakubaganya ebirowoozo baggwamu ekiwuggwe omwana n’alekera awo okwetya.

l Mu kukolaganira mu bibinja kiyamba omusomesa okuwewula ku mirimu gye kyokka ate nga buli kimu kikoleddwa mu makubo amatuufu Ssinga essomero litandika kiraabu eno ne bategeeza Bukedde tujja ne tubeerawo mu kuggulawo kiraabu era buli kikoleddwa ne kifulumira ku mikutu gya Bukedde egy’enjawulo okuli olupapula lwa mawulire, ku leediyo ya Bukedde Embuutikizi ne kuBukedde ttivvi.

Olw’olumu era tuyitako ku ssomero ne tulaba engeri gye mukozesaamu akatabo ka PASS PLE. CLUB YA KAREN Mu kuggulawo ‘Club’ ku ssomero lya Karen omu ku basomesa abategeka ebibuuzo bya Pass PLE mu Bukedde, Mw.

Bernard Mbyehuzya owa Kampala Parents School yaluhhamizza abayizi ku bibuuzo eby’enjawulo nabawa n’obukodyo kwe balina okutambulira bwe baba baagala okuyita mu kusoma kwabwe n’okubeera n’obuvunaanyizibwa nga bamalirizza okusoma.

Yabakuutidde okubeera n’ebitabo byabwe okuva mu bibiina ebya wansi nga mu P3 so si bya P7 byokka kubanga babuuza omuyizi okuva ku bintu ebisomesa mu bibiina ebyawansi okutuuka mu P7. Noolwekyo yabakuutidde okugamba n’abali wansi obutazannya wabula basseewo omwoyo eri abasomesa bye babagamba kubanga bya mugaso. Yabakuutidde okwetegereza nga ebibuuzo okwewala okukola ensobi nga babiddamu. Yategeezezza abayizi nti okuyita Okubala olina kwekubiriza okusoma n’okwegezaako ng’oddamu ebibuuzo.

Kikuyamba okukaza n’obuteerabira. Abayizi yabakubirizza okukozesa akatabo ka Pass PLE akafulumira mu Bukedde buli Mmande okusoma ku masomo agatera okubakaluubiriza n’okumanya enziramu y’ebibuuzo ey’enjawulo. Muky. Margaret Nankinga akubiriza amasomero ga pulayimale amalala okwettanira okuggulawo Pass PLE Club kubanga ejja kuyaba okutumbula ebyensoma mu bayizi.

Margaret Kemigisha nnannyini ssomero lya Karen Kindergarten and Primary School musanyufu bya nsusso olwa Bukedde okutongoza Pass PLE Club yaabwe ne yeeyama okwongera okukubiriza aayizi okukozesa akatabo ka Pass PLE. Okumanya ebisingawo ku kuggulawo Pass PLE Club kuba essimu 0703-678826 oba 0775-096719

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...