TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bujingo ayagala twawukane awase mukazi we omupya'

Bujingo ayagala twawukane awase mukazi we omupya'

By Musasi wa Bukedde

Added 30th April 2019

Agamba nti Bujingo ayogera bulimba. Ekimuluma nnagaana okussa omukono ku mpapula z’okwawukana asobole okuwasa omukazi omulala. Bategeka mbaga n’omuwala (amannya gasirikiddwa), akolera ku Salt Ttivvi era Bujingo yamupangisiza ennyumba e Lungujja.

Yitamu 703x422

Teddy Nanuswa, mukyala wa Bujingo.

Muka Bujingo, Teddy Nanuswa Bujingo ategeezezza Bukedde nti bba ayagala baawukane awase omukazi omulala.

“Tubadde mu bufumbo kati emyaka 29. Tufuniddemu abaana bana okuli omuwala omukulu ow’emyaka 27.

Ebintu byatandika okutabuka mu 2016, omwami wange bwe yatandika okukomawo awaka ng’akyuse nnyo. Nnafuna olugambo nti alinayo abakazi abalala,” bwe yategeezezza.

N’agamba: ebintu byatabukira ddala mu 2017, Bujingo bwe yatandika okusula awaka olunaku lumu oba obutaddira ddala okumala wiiki.

Bwe nnamugambako n’atiisatiisa nti bwe sisirika, agenda kutegeeza ekkanisa nti nze (Teddy) ne muwala wange twagala kubba ttaka lya kkanisa.

Ekigendererwa kyali kutwonoona. Bujingo yampa ekirowoozo twawukane ne nkigaana kubanga nze naye ffe tukulira ekkanisa tulina okuba ekyokulabirako ekirungi.

Abaana baatandika okumbuuza kitaabwe gy’ali ne nkaluubirirwa okubabuulira wadde nga nnali ntegedde ku bigambibwa nti alina omuwala akola ku Salt Ttivvi eya Bujingo.

Ttivvi eno ne leediyo gattako ettaka eriri ku yiika 8.5 bye bimu ku byobugagga by’ekkanisa eyo.

Ettaka lyagulwa doola obukadde 2 n’emitwalo 15 (eza Uganda obuwumbi 8 n’emitwalo etaano).

Ettaka lino, Bujingo ly’agamba nti njagala kulibba ne muwala wange Doreen Kirabo. Agattako: Bujingo y’akola buli kimu mu kkanisa.

Kye yakola kwe kunzigya ku lukalala lw’abalina okubuulira. Ate mu January 2018, yajja awaka n’alagira abaana okufulumya engoye ze zonna n’engatto babisse mu mmotoka ye.

Bwe yali tannasimbula kuva waka e Kitende n’ategeeza abaana nti, “twawukanye ne maama wammwe. Takyali mukazi wange. Kyokka mwe nja kugenda mu maaso okubalabirira.”

Okuva olwo, agamba nti Bujingo yatandika okwogera eby’okwawukana. N’atuuka n’okututiisa okussa ekifaananyi kyange(Teddy) ne Doreen ku mikutu gy’amawulire ng’ategeeza nga bwe twagala okubba ettaka ly’ekkanisa.

Ku Ssande, abantu bankubidde essimu nga bandabula nve ku by’ettaka ly’ekkanisa. Olwo Bujingo yabadde amaze okwogera ku katuuti nga mukazi we bw’ayagala okwezza ettaka ly’ekkanisa.

Agamba nti Bujingo olumu yali abuulira ku mpeta n’aggyako eyiye (eya Bujingo) n’agisuula.

Yantegeeza nti tagenda kuddayo kugyambala era agenda kugibuulirako enjiri okumala emyezi esatu ebeere nga tekyalina makulu.

“Kyokka wadde Bujingo yasuula empeta, eyange nja kusigala nga njambala kubanga nagifuna mu mateeka,” bwe yannyonnyodde.

Agamba nti Bujingo ayogera bulimba. Ekimuluma nnagaana okussa omukono ku mpapula z’okwawukana asobole okuwasa omukazi omulala.

Bategeka mbaga n’omuwala (amannya gasirikiddwa), akolera ku Salt Ttivvi era Bujingo yamupangisiza ennyumba e Lungujja.

Amuzimbira enju endala e Wakiso mwe banaabeera ng’embaga ewedde. Sijja kukkiriza kwawukana.

Oyo ye baze. Ekinnuma kwe kunteekako eky’okwagala okubba ettaka ly’ekkanisa ne muwala wange Doreen. Twagala atuwe obuyambi okuli fiizi z’abaana n’obujjanjabi nga tulwadde. Ebijja nja kubigumira. Katonda gy’ali ekituufu kijja kuvaayo.” Bwatyo Teddy Nanuswa bwe yawunzise emboozi ye ne Bukedde ku bibatabula ne bba Omusumba Bujingo owa House of prayer Ministries.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...