TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Siba kwawukana na mukazi yandinkoze ekibi - Bugingo

Siba kwawukana na mukazi yandinkoze ekibi - Bugingo

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2019

Siba kwawukana na mukazi yandinkoze ekibi - Bugingo

Kip2 703x422

Bugingo

Paasita Aloysius Bugingo ayongedde okulumba mukazi we Teddy Naluswa nti taba kwawukana naye yandimukoze ekibi kubanga Teddy abadde waabulabe nnyo eri Bugingo. Bwe yabadde mu kusaba kwa ‘Lunch Hour’ eggulo mu kkanisa ya House of Prayer Ministries e Makerere yagambye: mbasaba munsonyiwe kubanga hhenda kwogeza bukambwe.

Ensonga ze njagala okwogerako zikwata ku bulamu bwange. “Neebaza Katonda kubanga olwaleero ndi mu mawulire nga siri mulambo ng’abagagga abalala.

Ssinga si ssaala zammwe ze munsabira mwandibadde munsoma mu mawulire ng’Omusumba eyattiddwa mukyala we,” bwe yategeezezza wakati mu kasiriikiriro akaabadde mu kkanisa.

Olwo yabadde ayogera ku mawulire agaafulumye eggulo omwabadde bye yayogera ku Ssande ku butakkaanya bw’alina ne mukazi we ne muwala waabwe Doreen. Teddy Naluswa naye yabadde mu mawulire ng’ayogera ku nsonga z’obufumbo bwabwe n’agamba nti Bugingo agezaako okumukaka baawukane.

AKANGULA KU DDOBOOZI

Bugingo yabadde yaakatandika okwogera, abagoberezi ne bamukubira engalo. N’akangula ku ddoboozi, “Ndi musanyufu nnyo okutuuka essaawa eno nga nkyali mulamu era nga nkyasobola okubaweereza kuba abantu bangi abattiddwa bakazi baabwe nga; Kasiwuukira, Nsenga, omusumba Tinkasiimire, James Kazini n’abalala era bonna tuboogerako ng’abagenzi mu kiseera kino,” bwe yakkaatirizza.

Yatuuse ekiseera n’aggyayo akatambaala okusiimuula entuuyo, nga bw’agamba nti mwetegefu okulekawo amaka ge agatunula ng’omuntu agasangibwa e Kitende asobole okutaasa obulamu bwe kubanga bwe businga.

“Nze nnava e Masaka nga ndi ku loole ya matooke ne ntandikira ku zeero noolwekyo ebintu bakola bikole si kye kikulu naye ekikulu kusigaza bulamu n’oweereza Katonda eyakutonda kubanga asobola okukuwa ebisingawo. “Abalabe b’omuntu tebabeera wala naye nange bulijjo nsula nabo mu nnyumba nga simanyi.

Naye kati Mukama abandaze era abo bonna abawoza mbu tumaze emyaka mingi tetusobola kwawukana tebamanyi kye boogerako kubanga ne sitaani gwe tulwanyisa essaawa eno naye yaliwo kuva dda naye na kati tukyamulwanyisa.”

Bugingo yagasseeko nti abamuwakanya olw’okuba ekkanisa agirinamu emigabo 100 ku 100 bamala biseera kubanga ye bwe yali asaba yasaba ku lulwe era nabo ne basaba ebyabwe era buli omu Katonda yamuwa ku lulwe.

Ekkanisa empya gy’agenda okuzimba eyitibwa Pentagon yaweze nga bw’erina okubeera ku ttaka lino era abakiwakanya bamala biseera kuba ne ssente ezaagula ettaka lino abagoberezi be baazisonda era be bannannyini migabo. Ettaka lino liwerako yiika 8 n’ekitundu, lyamalawo doola obukadde bubiri n’emitwalo 15 (eza Uganda obuwumbi 8 n’obukadde 50).

Bugingo yaweze nti sitaani ne bw’avaayo ne yeeyoleka atya tewali kigenda kugaana kuzimba kkanisa ku ttaka lya Canaan, wadde nga waliwo abaggulawo emisango basobole okubba ssente ezisondebwa. Mu nnaku 100 zokka basobodde okusonda obukadde 1,070 z’agamba nti abamulwanyisa ze baagala okubba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako