TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kasasiro wakukungaanyizibwa akolebwemu ebintu ebipya

Kasasiro wakukungaanyizibwa akolebwemu ebintu ebipya

By Deborah Nanfuka

Added 1st May 2019

Raymond Katebaka ssentebe UAIA agambye nti buli kintu ekisuulibwa kyakuddamu okukungaanyizibwa kikolebwemu ebintu ebipya, okugeza emifaliso, emipiira gya mmotoka, essimu n’ebirala.

Nema5 703x422

Abamu ku beetabye mu lukung'aana ku by’obutonde.

Ekitongole kya National  Environment and Management Authority  (NEMA) n’ekya Uganda Association for Impact Assessment (UAIA) bitandise kaweefube ku bintu nga kasasiro  bamufuule omulimu oguggyibwamu  ssente, okukuuma obutonde, okuyonja ebifo mwe tubeera  n'okukendeeza emikka  egy’obutwa mu bifo  bino. 

Timothy Muwonge maneja mu Environmental  Health and Safety ategeezezza   nti bafunye okusomoozebwa kungi olw’abantu abamansa kasasiro ekivuddeko obutonde bw’ensi okutaataaganyizibwa. Olw'embeera eno batandiseewo obukolero obugenda okukyusa ebitalina mugaso okubifuula eby’omugaso.

Polof. Dr. Hirashan Hettiarachchi akulira yuniti ekyusa kasasiro okumufuula ow’omugaso mu United Nations University (UNU) Flover Dresdan German agambye nti kasasiro avaamu ebigimusa, obucupa ne pulasitiika bisaanusibwa ne baggyamu payipu, engoye ebikopo, amasowaani, ebbaafu n’ebirala.  Raymond Katebaka ssentebe UAIA agambye nti buli kintu ekisuulibwa kyakuddamu okukungaanyizibwa kikolebwemu ebintu ebipya, okugeza emifaliso, emipiira gya mmotoka, essimu n’ebirala. 

Bino byatuukiddwaako mu lukungaana olw'ennaku essatu olwatudde ku Hotel Africana olwetabiddwamu abebyobutonde bw'ensi  okuva mu Zimbabwe, Tanzania, Kenya, Netherland  German, KCCA, NEMA,  Uganda n’ebitongole ebyenjawulo.      

Amakolero agatandikiddwawo  wano kuliko Kajjansi Town Council nga bakungaanya ttani za kasasiro 1,320 buli lunaku okuva mu bibuga eby’enjawulo.

Mu Kyengera Town Council pulasitiika bamukozeemu obutebe era  batandiseewo obukolero obutono.

Ebifo ebirala awatandikiddwa obukolero kuliko; Kitende, Bweya ne Namulanda nga beetaaga   1,868,500/- okutandika okukola.  Bakkaanyizza ne Kajjansi TC okuwaayo Poloti y’e Nakawuka olw’omulimu guno era batadde ssente mu babikungaanya.

Basuubira okutandikawo emirimu 500 buli mwaka giyambe abavubuka n’abakyala okwongera ku nnyingiza mu maka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte