TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Abasuubuzi tebategeera makulu ga kukuza lunaku lw'Abakozi'

'Abasuubuzi tebategeera makulu ga kukuza lunaku lw'Abakozi'

By GODFREY LUKANGA

Added 1st May 2019

"abakolera mu butale tebategeera makulu gali mu kukuza lunaku lw'abakozi, balulaba ng'olwabakozi ba gavumenti bokka ekitali kituufu."

Omumykawassentebewassloapeterlivingstonessenyonjo2 703x422

Omumyuka wa ssentebe wa SSLOA, Peter Livingstone Ssenyonjo.

AMYUKA ssentebe w’abasuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe (Owino), Peter Livingstone Ssennyonjo asabye gavumenti eteekewo omusaala ogusookerwako ogukwata obutereevu ku bakolera mu butale bategeere amakulu g'okukuza olunaku lw'abakozi.

Ssenyonjo agamba nti abakolera mu butale tebategeera makulu gali mu kukuza lunaku lw'abakozi, balulaba ng'olwabakozi ba gavumenti bokka ekitali kituufu.Yabyogedde ku Lwakubiri. 

Ssenyonjo agamba nti abasuubuzi abakolera mu katale ka St. Balikuddembe okuva ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abakozi abasookerwako lwe byasasika, abakola obulimu obutonotono olunaku lw’abakozi tebakyalukuza kubanga tebalaba we bafuniramu.

Ssenyonjo agamba nti baagoba eby’obufuzi mu katale kaabwe kubanga tebibayamba kukulaakulana kubanga ne bakasitooma baabwe bava mu bibiina eby’enjawulo ng’ekibagatta kubagulako by’amaguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono