TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baleese tekinologiya anayamba okutumbula ebyobulamu mu bitundu.

Baleese tekinologiya anayamba okutumbula ebyobulamu mu bitundu.

By Olive Lwanga

Added 1st May 2019

Aba Transparency International Uganda baleese enkola y'okukozesa tekinologiya okuyamba okutumbula eby'obulamu mu bitundu ebitali bimu nga basookedde kukozesa masimu kuloopa bizibu byabwe olwo aba transparency nebayingiramu okuyamba.

Lilianzaweddesenteza 703x422

Lilian Senteza

Baleese enkola ya tekinologiya okutumbula empeereza y’ebyobulamu mu bitundu.

AB’EKITONGOLE kya Transparency International Uganda baleese enkola y’okukozesa tekinologiya okutumbula ebyobulamu mu bitundu ebitali bimu. Enkola eno yatandikidde mu disitulikiti bbiri okuli Oyam ne Lira era nga kyazuuliddwa nti nkola nnungi nga kati bali mu kaweefube okulaba nga ne mu Kampala etandika.

Lilian Zawedde Ssenteza ow’ebyamawulire mu kitongole kya Transparency agamba nti ng’ekitongole balina pulojekiti ze bakolako naye eno etuumiddwa ICT for Health service delivery ey’okukozesa tekinologiya okutuusa empeereza ennungi mu by’obulamu ku disitulikiti.

Agamba nti bakolagana n’abantu abakwatibwako abawansi okuzuula omuwaatwa wa we guli olwo ne boogera ne be kikwatako okulaba nga batuusa empeereza ezo. Okugeza baagenda e Lira ne bakizuula nti abasawo batono, ate abamu bayosaayosa ne bagamba abakwatibwako ne babaweereza Dokita. Ebitundu ebimu ng’abasawo bakozesa kaabuyonjo ze zimu n’abalwadde naye bwe baazuula ekizibu kino era baakikolako nga bayita mu be kikwatako mu gavumenti ne babazimbira kaabuyonjo.

“Ffe tuyinza okuba nga tetulina busobozi kukola ku byetaago bya bitundu naye tuzuula omuwaatwa we guli ne tukola ne be kikwatako olwo empeereza n’etereera bulungi”.

Ate John Mary Odoy, akulira boodi ya Transparency International agamba nti bafulumizza alipooti okuva mu maloboozi g’abantu nga bakozesa tekinologiya wa ICT for Health Service ow’okukuba amasimu ku kitebe nga beemulugunya ku bizibu ebitali bimu bo ng’ekitongole ne bakola okulondoola olwo ne bafuna eky’okuddamu.

Okugeza ebizibu ng’abasawo obutamala, okuyosayosa, obutaba na ddagala limala bino byonna byazuuliribwa nga bakozesa tekinologiya ow’okukuba amasimu.

Yasabye gavumenti ekole ku nsonga z’abasawo okuba abatono, okubongeza omusaala baleme kukemebwa kubba ddagala, era gavumenti eyongere ebyetaagisa mu malwaliro abantu basobole okuba abalamu obulungi kuba omuntu omulamu y’akolola olwo eggwanga nerikulaakulana.

Bino babyogeredde ku Fairway Hotel mu Kampala ku Lwokubiri n’ekigendererwa ky’okutereeza mu mpeereza y’ebyobulamu mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...