TOP

Bugingo olutalo alutaddemu bazadde b’omukazi

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd May 2019

EBY’OMUSUMBA w’ekkanisa ya House of Prayer International e Makerere, Aloysius Bugingo ne mukyala we Teddy Naluswa tebinnaggwa omusumba bw’ayongedde okutaama olutalo lwabwe n’aluyingizaamu ne bazadde ba Teddy n’ategeeza nti ne kitaawe wa Teddy, Polof. James Naluswa yayawukana bubi ne nnyina wa Teddy nti era omukyala ono teyalekera bba wadde akantu.

Paasitabujingo1 703x422

Bugingo ne mukyala we Teddy nga bali mu kutendereza bwe baali tebannaba kutabuka.

Ayogedde ku bamunenya olw’okwawukana n’omukazi gw’amaze naye emyaka 29 n’ategeeza nti “Abo abalowooza nti nze nakoze kivve okwukana ne Teddy mugende munoonyereze ‘who is’ Teddy kubanga nnyina yatwala ebintu bya kitaawe Polof. James Naluswa byonna era musajja wattu ne kati taddangamu kubeera nga bwe yali,”Bugingo obwedda bw’awanda omuliro ng’eno enduulu zivuga okuva mu bagoberezi be.

Abadde mu kusaba okw’essaawa omusanvu ku kkanisa ye olunaku lw’eggulo.

Bugingo ayambalidde n’abagoberezi abamunenya okusuulawo mukyala we n’ategeeza nti bwe yali atandika ekkanisa teyayita baagala kufumbirwa wadde okuwasa era ye yakola kkanisa ya kusabira bantu.

“Nze sirina kintu na kimu kye nnejjusa era mpulira abantu bangi nga bagamba mbu ate kati paasita waffe yayawukanye ne mukyalawe kati ffe tugenda kukola tutya munzigyeko obutumbaavu wano bwe mwali mujja temwajja kufuna bakazi wadde abasajja mwajja kusaba Katonda mufune bye mwagala era abalowooza nti mwajja mu kkanisa eno kufuna bakazi oba basajja muve mu kkanisa,” Bugingo bw’ataamye.

Ayongeddeko nti eby’obufumbo bibeera bya buntu era embeera bw’egaana abireka era ye tayingira mu bufumbo bwa muntu yenna kubanga kubeera kusalawo kwe nga omuntu nga ye bwe yakoze.

Takomye awo wabula asekeredde n’abantu abeegasse ku mukyalawe okumulwanyisa n’agamba nti abo bamala biseera tewali kye basobola kukola n’abageraageranya n’omuntu alowooza nti asobola okukuba ekisiikirize engwala ng’alowooza nti n’omuntu anaagwa n’ategeeza nti ne ku ssente z’okuzimba ekkanisa ezisondwa tebagenda kufunako wadde ekikumi. 

Bugingo era asekeredde n’abamuyeeya nti yadduse mu nnyumba ye amatiribona esangibwa e Kitende n’agamba nti abo ekibatawaanya butasoma Bayibuli kubanga ne Kabaka Daudi yadduka mu Lubiri lwe n’alulekera mukaziwe Nikalu asobole okutaasa obulamu nga naye kennyini bwe yakoze.

“Katonda bw’aba akuwadde ekintu kibeera kikyo ne bwe bubeera ddi oba waakukifuna oli ne bw’akitwala naye ekisinga obukulu kubeera kutaasa bulamu kubanga Katonda abeera alina ensonga noolwekyo abo abannenya basooke bakirowoozeeko”.

MPONYE SITULEESI

Wakati mu nduulu okuva mu bagobereze be, Bugingo bakira ava mu kubuulira enjiri n’atandika okutambula ng’agooma nga bw’ategeeza nti kati omutima gwe gumuli awamu era agenda kuweereza Katonda okusinga ne bw’abadde amuweereza kubanga kati ebibadde bumutawaanya yabiwonye .

“Ne bwe ntambula nga nvimba ebibadde bintawaanya mbiwonye kati ndi ‘stress free’ era sirina kintu na kimu kintawaanya, henda kuweereza Katonda n’omutima gwange gwonna kubanga yampadde omukisa ogwokubiri okumuweereza “Bugingo obwedda bw’awera .

AMUYIMBIDDE OBUYIMBA

Mu ngeri esoomooza, Bugingo bakira asuulamu obuyimba obulabika nga obusoomooza omukazi okuli olwa Jose Chameleone olwa Abantu Beefuula nti gw’owonya eggere y’alikusambya ng’eno abagoberezi bwe baddamu nti ‘Twakoowa’ wakati mu nduulu ebadde esaanikidde ekkanisa .

ABAGOBEREZI BAMUWADDE SSENTE

Wakati mu nduulu, abagoberezi basimbye ennyiriri okumukulisa n’okumunazaako ennaku mukaziwe gy’amulabizza era bakira abategeeza nga bwe bakoze obulungi okuzimuwa nga mulamu kubanga ezo zennyini ze babadde bagenda okukozesa okugenda e Masaka okumuziika ng’afudde. Kyokka teyayogedde mukyalawe bye yakola kw’asinziira okumulumiriza nti yali ategeka kumutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....