TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekyeyo mu Buwalabu ggeyeena, buli omu aginyumya bubwe: Engalo yasigaza za bikuggu

Ekyeyo mu Buwalabu ggeyeena, buli omu aginyumya bubwe: Engalo yasigaza za bikuggu

By Lawrence Kitatta

Added 2nd May 2019

NAKITENDE eyagenda okukuba ekyeyo mu Buwalabu, engalo baazitemako kati alina bikuggu! Ku mbeera gye yayitamu, yayambibwa obutafiirayo kubanga ate bbo bazadde ba Nalwanga tebaafunye mukisa na kujjanjaba ku muwala waabwe era bazzizza mulambo! Tebali bokka abafunye ebisago ku kyeyo mu Buwalabu. Abawala abalala basatu nabo bali mu maziga era beevuma bakama baabwe be balumiriza nti baabakaka omukwano ne bakomawo n’embuto era kati basulirira kuzaala. Mu kukuza olunaku lw’abakozi olwaleero, ekyeyo kye kimu ku bitunuuliddwa okuyamba mu kukendeeza ebbula ly’emirimu. Okukuba ekyeyo kuyambye bangi okukyusa embeera zaabwe ne famire zaabwe wabula ebibiina ebirwanyisa okukukusa abantu bizze bikola lipoota eziraga nti abantu ssekinnoomu n’amakampuni agamu geeyambisizza ebbula ly’emirimu eririwo naddala mu bavubuka okukukusa abantu okubatwala ebweru w’eggwanga era abamu ne bafunirayo ebizibu. Bya Lawrence Kitatta

Invested1 703x422

Nakitende ng'alaga omukono ogwasalwako engalo.

Zubedah Nakitende 25, mu kiseera kino alina engalo za bikuggu. Yeevuma Murishid Durash Ssekabira eyamukukusa okumutwala e Jordan.

Agamba nti, yali atunda masimu mu Kampala, kkapito bwe yakendeera, n'asalawo agende ebweru anoonye ssente.

Agamba mu December 2018, yasisinkana Ssekabira eyamukakasa nti asobola okumutuusa mu Bawalabu n'akola ensimbi. Yamuwa 500,000/- zokka okumukolera ku by’entambula.

Agamba nti olunaku lwe yagenda, baasimbula abawala bana kyokka bwe batuuka e Mbale, baasangayo abalala 16 era okuyingira Kenya baayita Rwakaka. Annyonnyola nti wadde yalaba embeera gye bamuyisaamu nga nzibu, yaguma ng’alina okukkiriza nti gy'alaga binaatereera.

Agamba baayita mu mugga ng’amazzi gabakoma mu mabeere okutuuka ku kkubo we baasanga bodaboda nnya kwe beepanga okutuuka ku kiyumba we baabakungaanyiza.

Mu kiyumba, baasangamu abawala abalala 60 era agamba nti, abasajja baabasobezzaako eyo nga tebannabalinnyisa nnyonyi.

“Twamalawo ennaku nnya abamu ku ffe ne batukima okututwala ku Kenyatta International Airport we bampeera paasipooti yange kuba baali bazituggyeko ffenna.

E Jordan twatuuka kiro ne tusula ku ofiisi, mukama wange we yanzigya okuntwala mu makaage.” Nakitende bwe yategeezezza.

Olwantuusa awaka, muka nnyinimu yampa amazzi nganaabe olwagatekaamu omukono ne gusannyalalala.

Engalo zaasannyalala mu ddakiika era amasannyalaze bwe gaggwaamu, engalo zaatandika okunsiiwa n’okuzimba era omukono tegwaddamu kutereera.

Mu nnaku ssatu engalo zonna zaali zimaze okwabika nga zireenya era amazzi mba kuganaaba, nali waakufiirawo. Nalaajana olw'obulumi olw'okuba baali bandeese mu maka kukola nali sirina kyakukola, nneewaliriza nkole naye byagaana ne nsaba okunziza ku ofiisi.

Obulumi bweyongera nga ne ku ofiisi tewali bujjanjabi, omukono ne guddugala ng’oguliko enziro engalo ne zikalambala era bagenda okulaba nga tebajja kusobola ne bantikka ku nnyonyi ne nkomawo mu January 2019.

Eyantwala olwamanya nti nkomyewo yakuba essimu nantiisa okunzita singa mbaako kyenjogera. Nasibira wa maama e Kayunga nanzijjanjabako naye ng'engalo zeeyongera kuvunda ekyaddirira nga zikala zonna kwe kugenda mu ddwaaliro ne bazitemako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba