TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bugingo azimbidde omugole enju galikwoleka kw'okomya amaaso!!

Bugingo azimbidde omugole enju galikwoleka kw'okomya amaaso!!

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd May 2019

Paasita Aloysius Bugingo azimbye ennyumba amatiribona e Wakiso mw’agenda okubeera n’omugole Susan Makula Nantaba. Ennyumba eneetera okuggwa eri Nakedde mu Ggombolola y’e Namayumba. Eriko kalina bbiri. Etudde ku ttaka eriweza yiika 10.

Bujingo2 703x422

Kalina Bugingo gy’azimbidde omugole Susan Makula

Etudde ku ttaka eriweza yiika 10. Okutuukayo okwata ku lw’e Hoima n’okyamira e Namayumba ku mukono oguliko eggombolola y’e Namayumba ku kkubo eriyita e Malangata.

Ssentebe wa LC1 owa Nakedde, Willy Muwonge yategeezezza Bukedde eggulo nti basanyufu okusenza Bugingo kubanga bamusuubira okukyusa embeera y’ekitundu naddala ku ludda lw’ebyenkulaakulana.

“Bugingo ajja mu kitundu buli wiiki okulambula omulimu. Kyokka ffe aba LC tatweyanjuliranga mu butongole.

Tulowooza nti ekyo ajja kukikola”, bwe yategeezezza. N’agattako nti Bugingo yagula ettaka ng’ali n’omugagga omulala nga liweza yiika 30.

Aba LC abaaliwo mu kiseera ekyo nga bano Muwonge be yaddira mu bigere baategeeza Bugingo ne munne nti ettaka liriko abatuuze ab’ebibanja.

Bugingo ne munne bakkaanya n’abatuuze ne babalekera yiika 10, olwo Bugingo ne munne ne bagabana 20 ezaali zisigaddewo. Enju eno eri ku kasozi.

Yeetadde bulungi kubanga muliraanwa wa Bugingo asooka yeesudde kumpi kkiromita nnamba.

Bugingo okuzimba e Wakiso kiddiridde obutakkaanya ne mukazi we, Teddy Naluswa Bugingo ne muwala waabwe Doreen Gift Kirabo.

Obutakkaanya bwavaako Bugingo okuva mu maka ge e Kitende ku lw’e Ntebe.

Kigambibwa nti kati asula Lungujja mu Lubaga. Ku Ssande ewedde, Bugingo yasinzidde mu kkanisa ya House of Prayer Ministries International e Makerere - Kikoni n’alumba Teddy ne Doreen okugezaako okweddiza ettaka ly’ekkanisa. Kino Bugingo agamba kyavuddeko okutabuka.

Oluvannyuma yategeezezza nti takyaddira Teddy kubanga alina pulaani emutuusaako obulabe.

Kyokka Teddy naye yavuddeyo n’ategeeza nti Bugingo eby’ettaka abyekwekamu bwekwesi ekituufu yafunayo omukazi omulala ayitibwa Susan Makula akolera ku Salt Ttivvi ne Salt Radio.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...