TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bukedde by'ezudde ewa Maama wa Nantaba agambibwa okusigula Bugingo

Bukedde by'ezudde ewa Maama wa Nantaba agambibwa okusigula Bugingo

By Joseph Makumbi

Added 4th May 2019

Bukedde by'ezudde ewa Maama wa Nantaba agambibwa okusigula Bugingo

Nat3 703x422

Amaka gye bazaala Nantaba

KU Lwokuna, twatuuseeko mu maka g’omugenzi George William Kibuuka e Kyebando Nsooba mu Munisipaali y’e Kawempe gye bazaala omuwala Susan Makula Nantaba. Omuwala ono, muka Paasita Aloysius Bugingo gw’ayogerako nti amutabulidde amaka. Awaka twasanzeewo mmotoka kika kya Toyota Harrier eyakazibwako erya Kawundo eri ku nnamba UBA 481U Makula mw’atambulira ennaku zino.

Yabadde agenze kulaba ku nnyina Nnaalongo Kisembo omukosefu. Awaka twasanzeewo abaana abawerako n’abavubuka ababeera ne Nnaalongo era bano be baatwanirizza. Makula twamusanze mu ddiiro ng’alina engoye ze yeegezaamu nga nnyina yabadde atudde mu ntebe ku bbali.

Makula eyalabise nga si musanyufu olw’ebi-muwandiikibwako mu mawulire, yatusabye obutayingiza bazadde be mu nsonga ze ez’obuntu. Era olwatulabye yakangudde ku ddoboozi n’atugamba nti, ‘Maama talina ky’agenda kubagamba kubanga mulwadde ate ebiri mu mawulire tabimanyiiko mwandibadde mubuuza gwe bawandiikako.” Yagasseeko nti, tayagala famire kuyingira mu nsonga ze kubanga gye yalabaganira ne Bugingo, famire ye teyaliiyo.

Yategeezezza nti, ye y’atambuza obulamu bwe era bazadde be tebalina we bayingirira mu by’akola noolwekyo talaba nsonga lwaki amawulire gabibayingizaamu. Okugenda ewa nnyina wa Makula, kiddiridde abatuuze okulumiriza nti waliwo omukolo ogwakolebwa mu maka gano gye buvuddeko nga Bugingo alagibwa mu bazadde ba Makula kyokka gwali gwa nkukutu era baagumalira mu nnyumbaWadde abatuuze balumiriza nti Bugingo yalagibwa eri abazadde, tebakakasa oba kwali kukyala oba kwanjula.

Abatuuze b’e Nsooba baategeezezza Bukedde nti omukolo guno gwaliwo omwaka oguwedde era nti paasita Bugingo yatuuka ssaawa 12 n’ekitundu akawungeezi. Ab’e Nsooba bagamba nti lwe baddayo okulaba Bugingo mu maka ago era gwali mwaka guwedde, Nantaba bwe yafiirwa mukulu we era paasita Bugingo yalaga amaanyi bwe yassa ensimbi ennyingi ddala mu by’okuziika. Nantaba alina omwana omu nga wa musajja mulala, era kyategeezeddwa nti omwana ono abeera Kyebando ewa jjajjaawe.

Nnaalongo ensonga za muwala we, zimubobbya omutwe olw’engeri amawulire gye gazikuttemu era tayagalira ddala kuzinyegako. Bwe yabuuziddwa ku kya muwalawe okubanjulira Paasita Bugingo yagambye nti: “Ani aleese aba Bukedde bano mu maka gange? Ani abalagiridde wano, mugende ensonga zino sigenda kuzoogerako”. Ensonda zaagambye nti omukolo guno ogwaliwo akawungeezi paasita Bugingo n’abaamuwekera bajja n’emmotoka ssatu nga zonna zaali nsajja.

Ssentebe wa Kyebando Nsooba Joseph Ssebambulidde yakakasizza nti ddala omukolo gwaliwo wabula naye takakasa oba kwali kwanjula oba kukyala. Bino we bijjidde, nga muka Bugingo, Teddy Naluswa Bugingo akyakalambidde ng’alumiriza nti, olutalo bba lw’amusituddeko okumwonoonera erinnya mu bagoberezi be, terusibuka ku ttaka lya kkanisa nga bw’abyogera, lusibuka ku Makula gwe yafuna era gw’ayagala okutongoza okuba mukyalawe.

Ono, yatutte n’omusango ku poliisi e Kajjansi ng’alumiriza bba okuteekawo embeera y’obutabanguko mu maka gaabwe agasangibwa e Kitende ku lw’e Ntebe ate oluvannyuma n’anoba mu maka nga yeekwasa nti mukaziwe ayagala kumutta.

Omusango yaguloopye ku fayiro SD 51/30/04/2019 era omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti baakoze sitatimenti okuva ku bantu ab’enjawulo mu kunoonyereza kwe baliko era Bugingo bw’anaasangibwa ng’alina omusango, ajja kutwalibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.