TOP

Ssaalongo asobezza ku w’emyaka 7 ku jjambiya

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2019

Ssaalongo asobezza ku w’emyaka 7 ku jjambiya

Lop2 703x422

Ssaalongo Kiwanuka ku mpingu. Ku ddyo ye Ssebbowa akulira essomero.

POLIISI n'abatwala ebyenjigiriza mu Kalungu baliko omusajja ssedduvutto gwe bakutte n'aggalirwa ku bigambibwa nti abadde akifudde kinyumu okusobya ku kawala ak'emyaka omusanvu.

Okusinziira ku David Mukasa Bbaale akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti eno, eyakwatiddwa ye Ssaalongo Benon Kiwanuka ‘Mukonjo’ omutuuze ku kyalo Bulwadda mu ggombolola y'e Kyamuliibwa.

Ono okukwatibwa kyaddiridde omuyizi Cathy Nabakooza 7 ow'ekibiina ekyokusatu ku ssomero lya Bulwadda P/S, okuddukira ew'omusomesa n'amuttottolera nga Kiwanuka bw'abadde asusse okumukozesa.

Wano omukulu w’essomero Paul Ssebbowa naye we yabiyingiriddemu n'atemya ku bakama be n’avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu disitulikiti David Mukasa Bbaale. Bbaale yakwataganye ne poliisi y'e Kyamuliibwa olwo Kiwanuka n’akwatibwa.

Ssebbowa yategeezezza nti, omuyizi ono yabannyonnyodde nti, Ssaalongo Kiwanuka yasooka kumusobyako ku lunaku lwa Paasika, jjajjaawe bwe yali amutumye ewuwe kwe kumukwatira ejjambiya n'amulagira aggyemu empale, bwe yamaliriza emikolo ate n'amutiisatiisa okumusalako obulago singa ayogera.

Bazadde be Herman Kigongo ne Maria Nantongo baategeezezza nti, kawala kaabwe kabadde kabeera ne Jjajja waako Pascazia Nsekerabbanja 70, ng'ono mukwano nnyo gwa Ssaalongo Kiwanuka ng'era abaddenga tava wuwe.

Kigambibwa nti Ssaalongo Kiwanuka abaddenga yeeyambisa walagi okutamiiza nnamukadde okunyweza enkolagana yaabwe.

Poliisi omwana yamututte mu ddwaaliro lya Kyamuliibwa Health Centre IV, gye baamukeberedde ne bazuula nti, yabadde asobezeddwaako, era Ssaalongo Kiwanuka n'aggulwako omusango gw'okujjula ebitayidde oguli ku fayiro nnamba SD Ref:10/026/04/2019 gw'alindiridde okuwerennemba nagwo mu kkooti ng'okunoonyereza kuwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Freeman ayagala Butebi amuliyirire...

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula....

Pogba23 220x290

Pogba bandimuta mu January

Abakungu ba ManU bandyevaamu ne batunda Pogba mu katale akatandika omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi...

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...

Olegunnarsolskjaer271019 220x290

Ole Gunnar Solskjaer aliisa buti...

Obuwanguzi obuddiring’ana ku Spurs (2-1) ne Man City (2-1) bucamudde abagagga ba ManU ne bakakasa omutendesi Ole...

Skysportsrafaelbeniteznewcastle4707489 220x290

Tewali agenda kulemesa Liverpool...

Eyaliko omutendesi wa Liverpool, Rafa Benitez agambye nti tewali ayinza kulemesa ttiimu eno kuwangula Premier sizoni...