TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni alabudde ku nkung’ana ezimenya amateeka

Museveni alabudde ku nkung’ana ezimenya amateeka

By Ahmed Mukiibi

Added 6th May 2019

Museveni alabudde ku nkung’ana ezimenya amateeka

Sev1 703x422

Pulezidenti Museveni ng'ayogera

PULEZIDENTI Museveni afulumizza ekiwandiiko ng’annyonnyola ku kuhhaana n’ebivvulu ebikkirizibwa mu mateeka. Omusasi waffe AHMED MUKIIBI afunzizza ekiwandiiko kino.

Bannayuganda n’okusingira ddala abazzukulu. Mbalamuzizza. Nkakakasa abasinga obungi mwayise bulungi mu Mazuukira, ng’okuggyako obuzzi bw’emisango obutono ng’okuttibwa kwa Dr. Catherine Agaba n’obubenje obwaguddewo.

Mpandiise okutangaaza ku nsonga ey’enkuhhaana okuyisa ebivvulu n’okutegeka ebivvulu by’ennyimba ebikkirizibwa mu mateeka. NRM ng’ewagirwa Bannayuganda nga bayita mu nkiiko eza RC yalwana era ekyanyweredde ku nsonga 10:

1 Okuzzaawo demukolaase

2 Okuzzaawo obukuumi bw’abantu n’ebyabwe

3 Okunyweza obumu bw’eggwanga n’okumalawo obusosoze bwonna mu bantu olw’amawanga gaabwe 4 Okulwanirira n’okunyweza obwetwaze bwa Uganda

5 Okuzimba ebyenfuna by’eggwanga ebyentegeredde era ebyemalirira

6 Okuzzaawo n’okusitula omutindo gw’embeera z’abantu n’okuddaabulula ebyataagulwataagulwa entalo

7 Okumalawo obuli bw’enguzi n’okukozesa obubi obuyinza

8 Okutereeza ensobi ezaakolebwa ne kivaako ebitundu ebimu okusigalira

9 Okukolagana n’amawanga ga Afrika amalala;

10 Okugoberera enkola y’ebyenfuna egatta enkola endala zonna wamu. Ensonga nnamba 2 “Okuzzaawo obukuumi bw’abantu n’ebyabwe”. Mu bulumi obw’amaanyi ku ludda olw’abalwanyi (entuuyo n’omusaayi), tutuuse ku buwanguzi oluvannyuma lw’emyaka egisoba mu 50 egy’okulwana n’okulwanyisa abamenyi bw’amateeka Rwenzururu, Kony, ADF, FOBA, UPA, Kirimuttu, Karimojong ababba ente n’ebirala) bonna abafutiziddwa.

Okusobola okutuuka ku buli nsonga ya Uganda ku nguudo eza kolaasi mu mirembe. Obungi bw’abantu bulinnye okuva ku bantu obukadde 14 mu 1986 okutuuka ku 41 olw’enteekateeka ennungi ey’okubagemesa. Mu kiseera ekyo ebyefuna bya Uganda byali byafa dda. Mu 1986, tewaaliwo sukaali, ssabbuuni, omunnyo, engoye n’ebirala.

Olw’obutetenkanya bwa NRM enfuna yabbululwa kati Uganda y’emu ku nsi ezikulaakulanira ku sipiidi ey’amaanyi mu nsi yonna. Kino kivuddeko ssente eziva mu misolo okweyongera okuva ku buwumbi butaano mu 1987 okutuuka ku buwumbi 17,000 olwaleero.

Kyokka ssente ezo zonna teziyinza kusaasaanyizibwa ku byokwerinda n’obukuumi kubanga ebintu ng’enguudo biyinza okwerabirwa.

EBISAASAANYIZIBWAKO SSENTE 1 Enguudo- obuwumbi 4,786.6 2 Amasannyalaze obuwumbi 2,438.2 3 Ebyenjigiriza obuwumbi 2,781.1 4 Ebyobulamu obuwumbi 2,310.1 5 Ebyokwerinda obuwumbi 1,967 6 Poliisi obuwumbi 616.3 7 Amazzi obuwumbi 1,265.8 Okussa ku mwanjo ebyenguudo, amasannyalaze, ebyenjigiriza, ebyobulamu tusobodde okutuuka ku birungi nga; oluguudo olwa koolaasi olwa mayiro 653 okuva Oraba mu Koboko okutuuka Cyanika – Bunagana mu Kisoro ku nsalo ya Congo – Rwanda. Oluguudo lwa mayiro 368 okuva Malaba – Busia okutuuka Mpondwe mu Kasese ne Lamia, Busunga mu Bundibugyo.

Disitulikiti za Uganda zonna zirina amasannyalaze naddala ku bitebe byazo. Bino bitegeeza ki, ku ludda lw’okukuuma abantu n’ebyabwe? Ku bantu obukadde 41, mu nkola egobererwa ensi yonna, buli bantu 500 balina okukuumibwa omuserikale omu owa poliisi, ekitegeeza nti Uganda yandibadde n’abaserikale ba poliisi 82,000.

Singa tokola tutyo, ssente ez’okukola enguudo n’ebirala zinaava wa? Waliwo obujulizi obulaga abantu ababba emisolo nga bayambibwako abali b’enguzi mu kitongole ky’omusolo naye abo bajja kukolwako naye nga tekinnabaawo tulina okutetenkanyiza mu buwumbi 17,000 ze tukuhhaanya gattako n’endala ze twewola ne tuweza obuwumbi 32,000 eza bajeti y’eggwanga.

Poliisi kati erina abaserikale 43,000, nga bano kitundu butundu ku muwendo gwe twetaaga. Obutono bw’aba poliisi gattako enguzi bye bivaako emiwaatwa egyavaako ettemu ery’abantu nga ba Maseeka, Kagezi, Kawesi ne Kiggundu.

Abatemu abaawamba Susan Magara twabazuula, baakwatibwa n’abamu battibwa mu kulwana okwali mu muzikiti. Ekibinja kya Kiddawalime e Masaka abatta abantu bataano mu bitundu by’e Masaka bonna baakwatibwa oba battibwa. Mu kaweefube ow’okuziba emiwaatwa, twasazeewo okuleeta tekinologiya – kkamera okulondoola mmotoka n’abantu.

Ku nsonga ey’enkuhhaana, ogwabadde omulamwa gw’ekiwandiiko kino, NRM esibidde ku bukuumi bw’abantu n’ebyabwe nga bwe kirambikiddwa mu nnyingo nnamba 2 ku nnyingo ekkumi eza NRM.

Bw’oba waakutegeka olukuhhaana oba okuyisa ebivvulu ng’olina ensonga eri mu mateeka, oteekwa okukwatagana ne poliisi okusobozesa olukuhhaana lwo oba ekivvulu kyo obutataataaganya mirimu n’okussa mu katyabaga abantu abalala n’ebintu byabwe.

Mukkaanye ne poliisi ku makubo bw’ekiba nga kyakuyisa bivvulu oba okukkaanya ku kifo singa olukuhhaana we lutegekebwa. Ekizibu kye tulina n’abantu ab’oludda oluvuganya kubuusa kino maaso ne baagala okutegeka enkuhhaana n’okuyisa ebivvulu okumpi n’obutale n’ebifo omuli abantu abangi.

Kino kikafuuwe NRM okukikkiriza , okwonoona ebintu by’abantu n’okussa obulamu bw’abantu mu bulabe. Kino anaakikola oba okugezaako okukikola nga Joseph Kony, Jamil Mukulu, Abakaramoja ababbi b’ente n’ebalala).

Mu biseera eby’Amazuukira nnalabye ku ttivvi Abakristaayo nga batambuza ekkubo ly’omusaalaba mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, simanyi oba baakolaganye ne poliisi naye sirina mutawaana gwonna gwe nnawulidde ogwavudde mu kutambula kwabwe olw’ensonga nti, tebaabadde na bigendererwa bikyamu ate nga kyakoleddwa mu biseera eby’okuwummula ng’emmotoka ntono ku nguudo.

Okulemera ku kuyisa ekivvulu mu katale oba ku luguudo olukwatiridde abantu kya bumenyi bw’amateeka tetusobola kukikkiriza. Tetuyinza kukkiriza ‘luutingi’ kudda mu Uganda, ‘luutungi’ eyasembayo yaliwo mu 1979, taliddamu kubeera mu Uganda nga NRM ekyaliwo Okukuba olukuhhaana, okuyisa ebivvulu oteekwa okubeera n’ensonga eri mu mateeka, tokkirizibwa kuyisa kivvulu oba okutegeka olukuhhaana ku nsonga etakkirizibwa mu mateeka– okusaasaanya obulimba, okwawulayawula mu mwanga n’okusaasaanya obukyayi.

Abaakola ensobi ne bakkiriza ebintu ng’ebyo baakisasulidde. Mwalabye ettemu eryabadde mu New Zealand? Ate mu Sri Lanka gye buvuddeko, e Bufaransa, Bubirigi, mu Norway n’awalala.

Ate ekittabantu ekyali mu Rwanda? Ebizibu mu nsi ezo byatandikiriza mpola naddala okuva mu boogezi abajinga. Ku ntandikwa Gavumenti yalina okukwata ku nsonga ey’eddembe ery’okusinza naddala okulwanyisa okubuulira okw’okusiga obukyayi n’obulabe era ensonga twagikwata bulungi naye nga nalina obuzibu n’eddiini nansangwa (Abasiraamu, Abakatoliki n’Abkrisitaayo) abaali bafunvubidde nga balumiriza nti ekkanisa empya zibuzaabuza abantu.

Nnali siyinza kubeera mulamuzi wabula kye nasimbako essira nti okubuulira kwonna kuteekwa okugoberera amateeka ga Uganda. Noolwekyo bw’oba oyagala okutegeka olukuhhaana oba ekivvulu, oteekwa okubeera n’ensonga eri mu mateeka, bw’osaasaanya obulimba, okuvumirira bamusigansimbi n’ebirala, tetujja kukuganya. Abanaabusa ensonga eno amaaso bagenda kukisasulira. Kimenya mateeka omuntu yenna okuvumirira enkulaakulana etuukiddwaako.

Wabula tetugaana waliwo obunafu wano na wali naye obunafu obuliwo bwa kiseera buseera. Omulabe wa Uganda oba omuntu atagoberera bigenda mu maaso y’ayinza obutasanyukira bituukiddwaako mu Uganda.

Mu kifo ky’okusekeeterera, osobola okugamba nti, Uganda ekyasobola okukola obulungi okusingako kati, naye okugamba nti, Uganda esereba era ebengeya obwo bumenyi bw’amateeka.

Wabula ssikkaanya n’ebikolwa ebya poliisi okukuba endabirwamu z’emmotoka ya Bobi Wine ne bazaasa. Bandibadde emmotoka bagisika okutuuka wonna we baabadde bamwagala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...