TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munyagwa talabiseeko mu kkooti ku misango gy'okulya enguzi

Munyagwa talabiseeko mu kkooti ku misango gy'okulya enguzi

By Alice Namutebi

Added 6th May 2019

OMUBAKA wa Kawempe South, Mubarak Munyagwa era nga ye ssentebe w’akakiiko akakola ku kulondoola emirimu gy’ebitongole bya gavumenti aka COSASE talabiseeko mu kkooti y’abalyake e Kololo mu misango gy’okulya enguzi n’okufuna ssente ng'akozesa olukujjukujju.

Aaaaaaabig703422 703x422

Omubaka Mubarak Munyagwa

Munyagwa asindise looya we Caleb Alaka n’ebbaluwa eraga nti yagenze  mu musomo e Nairobi ogwekuusa ku COSASE olugenda okumala wiiki nnamba.

Munyangwa avunaanibwa okulya enguzi ya bukadde 100 okuva ku mugagga Francis Kakumba.

Kigambibwa nti bino byaliwo mu 2014  bwe yamukakasa nti agenda kusendasenda bakansala balonde mutabani wa Kakumba amanyiddwa nga Isaac Muyanja akiikirire Kawempe division ku kakiiko k’ettaka aka KCCA.

Wabula Munyagwa awakanya omuwaabi wa gavumenti omukulu okumuvunaana. Agamba nti ye ne Kakumba baali bategeeragana dda emisango ne bagimala.

Ye omulamuzi  Pamela Lamunu omusango agwongzzaayo okutuusa nga June 10, 2019  era n'ayongezaayo n’ekiragiro ekiyita Munyagwa mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze