TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ofiisi ya Kaliisoliiso erimu kawuukuumi - Museveni

Ofiisi ya Kaliisoliiso erimu kawuukuumi - Museveni

By Moses Nsubuga

Added 7th May 2019

PULEZIDENTI Museveni agambye nti ofiisi ya Kaliisoliiso wa gavumenti erimu kawuukuumi kye yava asalawo okulondayo obukiiko obulala mu ofiisi ye okwongera amaanyi mu kulwanyisa enguzi.

Sevo 703x422

Minisita avunaanyizibwa ku mpisa Fr. Lokodo (ku kkono), amyuka sipiika Jacob Oulanyah, Pulezidenti Museveni, Ssaabawandiisi w’amawanga agaafugibwako Bungereza Patricia Scotland ne Kaliisoliiso Irene Mulyagonja (ku ddyo).

Yagambye nti ebifo okuli ekya URA, Kaliisoliiso wa gavumenti n’ebirala baatunuuliranga busobozi bwa muntu naye kati muntu kuba na bitabo kyokka kye kitunuulirwa so nga omuntu ayinza okuba n’obusobozi nga bumanyiddwa wadde talina bitabo bisukkiridde.

Pulezidenti okwogera bino yabadde aggulawo olukiiko lw’ebitongole ebirwanyisa obuli bw’enguzi olw’amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza oluyindira ku Serena Hotel e Kigo.

Yagambye nti singa ossaawo abaserikale okukuuma ebintu by’abantu kyokka okubeemulugunyako ne kuyitirira, olina okubassaako abaserikale nabo ababalondoola naye kye yakola n’assaawo obukiiko obulala obulondoola abali b’enguzi.

Wano we yayanjulidde Edith Nakalema gwe yayogeddeko ng’akoze ennyo okulwanyisa enguzi n’amwebaza era n’amusitula mu bantu okumwebaza mu lujjudde olw’omulimu omulungi gw’akolera eggwanga.

Yawadde ekyokulabirako nti yassaawo akakiiko akalondoola eddagala mu malwaliro nti era kakoze kinene okukwata ababba eddagala lya gavumenti, n’akakiiko akalala ke yateekawo, ke kalondoola bayinginiya ababadde bakola enguudo mu ngeri ya gadibengalye.

Yakiggumizza nti tewali muntu asukkiridde bunene mu Uganda atayinza kukwatibwa ng’alidde enguzi n’ajjukiza nti yali yaakajja mu buyinza, bwe yatandika okulwanyisa enguzi nga waliwo abawoza ‘twakalaba’, naye kati bano bonna abalinnye ku nfeete.

Yeenyumirizza ku ky’okulwa mu buyinza n’agamba nti kimuyambye okufuna obudde obumala okulwanyisa enguzi nga kati w’etuuse ekendedde mu ggwanga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bba wa Julie Angume talabiseeko...

JULIE Angume ebintu bimutabuseeko bbaawe omupya, Sam Sekajugo bw’atalabiseeko ku mukolo gwe ogw’okumwanjula mu...

Fanayo 220x290

Obukodyo mukaaga bwe nkozesa okulembeka...

OBUYIIYA bwa ssente ebiseera ebisinga kiva ku kusoma embeera gy’otambuliramu, kati mu kaseera nga kano ak’ennaku...

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.