TOP

Ogwa Kitatta gusalwa nga 13 May 2019

By Joseph Makumbi

Added 7th May 2019

KKOOTI y’amagye emalirizza okuwumbawumba emisango egivunaanibwa eyali omuyima wa Bodaboda 2010, Abudallah Kitatta ssentebe waayo naawa olwa May 13, 2019 kkooti lw’eneesala omusango.

Kitatta703422 703x422

Kitatta

Ofiisa w’eddaala erisembayo okubeera ettono ku batuula ku lukiiko lwa kkooti y’amagye, byanaawa mu ngeri gye yalabyemu obujulizi bwonna ku njuyi ebbiri olwa Kitatta n’oluwaabi, kkooti by’eneesinziirako okuwa ensala yaayo.

Omuwabuzi wa kkooti eno mu by’amateeka Col. Richard Tukachungura bwe yabadde awumbawumba obujulizi bw’enjuyi zombi, yagambye nti okusalawo oba Kitatta ne banne bayimbulwa oba basibwa, kkooti yakutunuulira okunoonyereza kwa ofiisa w’amagye ow’eddaala erisembayo okubeera wansi ku kakiiko ka kkooti.

Kkooti y’amagye eriko ofi isa omu ow’eddaala erisinga okubeera wansi nga ye W0 1 Kamya era ng’okusinziira ku Tukachungura ono by’anaasalawo bye bijja okutwalibwa kkooti.

Amateeka agagobererwa bannamagye aga UPDF, etteeka erya 49 (1) liwa ofi isa ow’eddaala eryawansi obuyinza okuwa ensala ye era n’egobererwa kkooti okusingisa omuntu omusango oba okumwejjeereza.

Tukachungura yagambye nti erina okwekenneenya obujulizi bwonna obw’oludda oluwaabi n’olwa Kitatta n’obwegendereza olwo basooke bawe ensala yaabwe nga kkooti .

Yakkaatirizza nti ensala yaayo erina okutunuulira n’obwegendereza ensonga zino wammanga

Ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu bukyamu , kkooti erina okutuunulira oba ddala abawawaabirwa baasangibwa n’ebyokulwanyisa ebyogerwako oba nedda.

Oba ng’emmundu n’amasasi abawawaabirwa bye baasangibwa nabyo baali balina layisinsi entuufu ebakkiriza okubeera nabyo.

Oba nga ebyambalo bya UPDF bye basangibwa nabyo baali babirina mu butuufu oba nedda .

Ofiisa wa poliisi Ngoobi Sowali oba nga yalina olukusa okubeera n’ebyokulwanyisa era ssinga yali talina lukusa waakusingisibwa emisango ng’ofi isa wa poliisi.

Oludda oluwaabi oba nga lwakakasa bulungi mu bujulizi bwalwo awatali kubuusabuusa nti abawawaabirwa balina emisango , olwo kkooti esalewo oba ebayimbula.

Kitatta ne banne mwenda bamaze omwaka mulamba mu kkomera okuva lwe baakwatiba mu January 2018 ku misango gy’okusangibwa n’emmundu, amasasi ssaako ebyambalo bya UPDF nga byonna babirina mu bukyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza