TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UNEB eraze ssente z’ebigezo abayizi ze balina kusasula

UNEB eraze ssente z’ebigezo abayizi ze balina kusasula

By Kizito Musoke

Added 7th May 2019

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kiraze ebisale ebirina okusasulwa abayizi ba P7, S4 ne S6 okusobola okubawonya amasomero agabadde gabasaba ssente ennyingi.

Aaaaaabig703422 703x422

Dan Odongo akulira ekitongole kya UNEB

Mu kiwandiiko ekyateereddwako omukono gw’akulira ekitongole kya UNEB, Dan Odongo kyalaze nti buli muyizi wa P7 okutuula ebigezo bya PLE alina okusasula 34,000/-.

Omuyizi wa S4 okukola ebibuuzo bya UCE alina kusasula 164,000/- ate owa S6 okutuula UACE asasula 186,000/-.

UNEB okuvaayo okutangaaza ku bisale ebirina okusasulwa abayizi kiddiridde abazadde okwemulugunya ku ssente ennyingi ezibasasuzibwa amasomero nga bagamba nti zaabigezo.

Abayizi ba P7 abamu babadde babasaba 100,000/-, ate bwe kituuka ku S4 ne S6 babasaba 300,000/-.

Ssente z’okwewandiisa zikomekkerezebwa okusasulwa ku Lwokutaano nga May 31, 2019.

Kyokka ssinga omuyizi abeera alemereddwa okusasula mu budde buno aweebwayo ekiseera okusasuliramu nga talina kusuka June 31, 2019.

Kyokka abayizi abasasula oluvannyuma balina okuwa engassi y’amagoba ga bitundu 50 ku 100 ku ku ssente ezaagerekebwa ku ntandikwa.

Kino kitegeeza nti owa P7 asasudde mu budde awaayo 34,000/-, ate aluddeewo n’ayongeramu 17,000/- n’abeera ng’asasudde 51,000/-.

Owa S4 asasula 246,000/- ate aba S6 basasule 279,000/-. Omukulu w’essomero yenna asaba abazadde ssente ezisukka mu zaalagiddwa abeera amenya mateeka.

Odongo yajjukizza abayizi abali ku nkola ya bonnabasome nti ssente z’ebibuuzo Gavumenti y’ejja okuzisasula.

Ekizibu ky’abayizi okulemwa okwewandiisa olw’okuba ssente ezibasabibwa nnyingi, kye kimu ku bikosa abazadde.

Abalala okufuna ssente zino bamala kwetundako byabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.