TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita Bugingo bamutaddeko akazito n'ayimiriza emikolo gy'okwanjula Susan Makula

Paasita Bugingo bamutaddeko akazito n'ayimiriza emikolo gy'okwanjula Susan Makula

By Musasi wa Bukedde

Added 7th May 2019

Paasita Aloysius Bugingo yeesitudde ku Ssande akawungeezi n’agenda mu maka g’abakulu abazaala omugole Susan Makula Nantaba e Kyebando.

Bujingo 703x422

Teddy Bujingo, Paasita Bujingo ne Susan Makula Nantaba ayagala okusuuza Teddy obufumbo

Bakkaanyizza okwongezaayo omukolo gw’okwanjulwa ogubadde gwengedde balindeko embeera ey’obunkenke eriwo ekkakkane.

Bino biddiridde muka Bugingo, Teddy Naluswa okukola olulumba ku Ssande n’agenda mu kkanisa ya House of Prayer e Makerere - Kikoni ne yeetaba mu kusaba.

Naluswa yataddewo embeera ey’obunkenke kubanga yabadde tasuubirwa. Kyokka Bugingo embeera yagikutte mu ngeri ya bukugu bwe yeewaze okulumba Teddy Naluswa eyabadde atudde mu kifo ky’abakungu n’abasumba.

Bugingo nga tannatandika kusaba yasise mu mukono abaabadde mu kifo kino era bwe yatuuse ku Teddy naye n’amukwatako mu ngalo.

Kigambibwa nti Bugingo abadde ategese okwanjulwa Susan Makula ku nkomerero y’omwezi guno.

Bwe yavudde mu kusaba ku Ssande, Bugingo ng’awerekeddwaako abantu mukaaga baatuuse e Kyebando ku lw’e Gayaza gye bazaala Susan ku ssaawa nga 11:00 ez’olweggulo. Baatambulidde mu mmotoka ssatu okuli; Harrier, Premio ne Prado.

Abako olwatuuse baayaniriziddwa Susan Nantaba eyabayingizza obutereevu mu nnyumba omwabadde akafubo akeetabyemu abantu aboolubatu.

Abamu ku baawaka abeetabye mu kafubo kwabaddeko ssenga wa Susan, Nnaalongo Imelda Kisembo, maama wa Susan ne Susan Nantaba yennyini.

Ensonda zaategeezezza nti akafubo keetoolooledde ku nsonga z’okwanjula nga waliwo okutya nti Teddy Naluswa asobola okulinnya eggere mu mukolo ng’akolera ku magezi g’abalabe ba Bugingo okuli abaamuwadde amaanyi okulumba n’ayingira mu kusaba ku Ssande ng’aliko n’abakuumi abaamuwerekedde.

Kyategeezeddwa nti bakkaanyizza okukyusa olunaku lw’okwanjula kutegekebwe nga kwa kyama olw’okwewala abayinza okwagala okukulemesa.

Ekirala bakkiriziganyizza okukyusa ekifo kuleme kubeera Kyebando gye bazaala Susan kubanga awo wangu abantu abakyamu okulemesa.

Mu kiseera kye kimu ekifo kifunda okutegekeramu omukolo ogugya mu bunene bwa Bugingo n’abantu abanaagwetabako.

Baasazeewo okwanjulwa bakutegekere mu wooteeri ejja okukuumibwa nga yaakyama okutuusa ku ssaawa envannyuma olw’ensonga z’ebyokwerinda. Era kijja kuba kyangu okugaana omuntu yenna atali muyite okuyingira.

Kyasaliddwaawo omukolo gubeerewo mu August 2019. Era kyasaliddwaawo okulondoola Teddy okumanya pulaani ze kubanga aliko abantu abanene okuli abasumba abamuwa amagezi okulemesa enteekateeka za Bugingo okwawukana ne Teddy mu butongole awase Susan.

Ssentebe wa LC1 e Kyebando-Nsooba, Joseph Ssebambulidde yakakasizza nga Bugingo bwe yakyaddeko mu maka g’omugenzi Kibuuka ku Ssande naye tamanyi kyamuleese.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...