TOP

Aba LDU batandise okufeffetta

By Musasi wa Bukedde

Added 7th May 2019

Aba LDU batandise okufeffetta

Teb2 703x422

AMAGYE galeese enteekateeka ku baserikale abakuuma ebyalo byalo aba ‘LDU’ okusobola okugogola ebifo byonna mu Kampala ebisinga okubaamu abamenyi b’amateeka.

Mu ntegeka eno, aba LDU essira bagenda kuliteeka mu bifo okuli omwala gw’e Nakivubo, Paaka enkadde, empya, Arua Paaka, mu Kisenyi, ku Ssaawa ya Kkwiini, n’ebifo ebirala ebyenzigotta ebirimu abamenyi b’amateeka. Bano wabula emirimu gyabwe bagenda kugikkakkalabya nga baluhhamizibwa amagye ne Poliisi basobole obutava ku mulamwa.

Ku Lwokuna oluwedde, abatuuze b’e Luzira ne Kitintale mu munisipaali y’e Nakawa baanenyezza aba LDU olw’engeri gye baakuttemu omuwagizi w’omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi ‘Bobi Wine’.

Ono baamukubye emiggo, ensambaggere era yawonedde watono n’okukubwa amasasi. Ayogerera amagye mu ggwanga Brig. Richard Karemire, yategeezezza Bukedde nti, balina essuubi lingi mu baserikale ba LDU okuggyako nti, engeri gye bakyali abapya ku mulimu, balina bye bakyabatendeka basobole okutereeza enkola y’emirimu gyabwe.

“Tetusaanye kutunuulira nnyo nsobi zaabwe kubanga buli muntu yenna engeri gye yakolangamu mu ntandikwa si y’engeri gy’akolamu kati. Kino kitegeeza nti teri atuukiridde,” Karemire bwe yategeezezza. “Tugenda kulaba nga balongoosa empisa zaabwe n’enkola y’emirimu okusobola okuweereza obulungi Bannayuganda naddala abali mu Kampala n’emiriraano.

Ekirala LDU eri wansi waffe ng’amagye wabula mu kiseera kye kimu, bajja kuba bayambako ne Poliisi nga tuzze tukolera wamu nabo mu nsonga z’obutebenkevu,” Karemire bwe yayongeddeko.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, yategeezezza nti, baawaliriziddwa okuyimbula omuvubuka aba LDU gwe baakutte era nga tewali musango gwamugguddwaako.

Ebyo nga bikyali awo, aba LDU baakoze ebikwekweto mu Kampala, mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga ne Ssande. Baakutte abantu abawerako oluvannyuma ne bakwasibwa Poliisi ya CPS mu Kampala, gye bagguddwaako emisango egyekuusa ku kusangibwa n’enjaga n’ebiragalalagala ebirala.

Poliisi egamba nti, nga bayambibwako aba LDU, baakugenda mu maaso n’okulawuna ebitundu by’ekibuga emisana n’ekiro okusobola okuffeffetta enfo z’abamenyi b’amateeka gye babadde beekukuma olwo Bannakampala bafune ku buwerero

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...