TOP

Abalimi b'enbikajjo begugunze

By Musasi wa Bukedde

Added 7th May 2019

Abalimi b'enbikajjo begugunze

Fot2 703x422

Ezimu ku loole z’ebikajjo. Wansi ye Baphu.

AMASASI ne ttiyagaasi byanyoose ku kyuma kya Kamuli Sugar mu disitulikiti y’e Kamuli. Bino byabaddewo ku Lwomukaaga Poliisi bwe yabadde egumbulula abalimi abaabadde bazze okwegugunga nga bawakanya Omuyindi asala ebbeeyi y’ebikajjo.

Abalimi, abasuubuzi ba diira, baddereeva n’abatissi baakedde ku kw’ekung’aanyiza ku kyuma kino ekisangibwa e Kiroba.

Baatandise okuwereekereza Abayindi ebigambo nga babuuza ekyavuddeko okussa ebbeeyi ya ttani, eyaliko ku 175,000/- n’egwa nga kati eri ku 127,000/- zokka. Ssentebe waabwe, Johnson Mubiru n’akakiiko ke baagezezzaako okutuukirira Omuyindi Patel Baphu oba abamuli ku lusegere ne bigaana.

Ekyazzeeko, abantu baasaanuuse ne bajjula ekibangirizi kya paakingi ne ku ggeeti ennene. Abayindi beenywezezza ne babagaana okufuna we bafuluma n’okufuuyisa mu kaabuyonjo.

Kino kyasaanudde abantu ne beesala omuguju. Abayindi baalabye embeera ebijja ne batumya Poliisi y’oku kkolero eyabakubyeemu ttiyagaasi n’amasasi mu bbanga, buli omu n’akwata lirye.

Moses Koromojo, 37, omulimi w’e Butansi, yagambye nti Abayindi bafuuse bazibu kuba bajja ne balambula ebikajjo ne babikakasa nti bikuze, kyokka bw’obituusaayo bagamba nti watemye bito, n’osoberwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....