TOP

Ssegirinya bamukoledde akabaga k'amazaalibwa mu Amerika

By Martin Ndijjo

Added 7th May 2019

'Boss Lady' Julie Zawedde akoledde Muhammed Ssegirinya akabaga k'amazaalibwa ak'ebbeeyi mu Amerika.

Us2 703x422

Ssegirinya ne Julie Zawedde

Nga tonnafa teweevuma nsi! Enjogera eno etuukira ddala bulungi ku bulamu Loodi kansala Muhammed Ssegirinya 'Ddoboozi lya Kyebando bw’alimu kati.

Ssegirinya eyaali omukubi w’amasimu ku leediyo  n’okukola emirimu gya lejaleja bukya yeesogga bukulembeze mu KCCA, buli lukya ebitaala byongera kumuta.

 segirinya wakati nga afuukamidde okwebaza ulie awedde okumukolera kabaga Ssegirinya (wakati) nga afuukamidde okwebaza Julie Zawedde okumukolera kabaga

W’osomera bino ali mu Amerika gye yagenze gyebuvuddeko okuwumulako. ku Ssande kyayitiridde bwe bamukoledde akabaga nga ajaguza okuweeza emyaka 32.

Akabaga kano ak’ebbeeyi kayite aka masappe akabadde e Boston era nga keetabiddwako Bannayuganda abawerako abali mu Amerika, Ssegirinya agamba mukwano gwe omukyala amanyiddwa nga ‘Boss Lady’ Julie Zawedde ye yakamukoledde.

 bamu ku bantu abeetabye ku kabaga ka segirinya nga bali mu lyato Abamu ku bantu abeetabye ku kabaga ka Ssegirinya nga bali mu lyato

Okumanya Zawedde yataddemu ssente eziwera, basoose ‘kulya bulamu’ mu mmotoka y’ekika kya limousine mwe bagabulidde abantu eby’okunywa, oluvannyuma omukolo gweyongeddeyo ku lyato (Boat Cruise) era eno kyasusse nga balya n’okunywa wamu n’okusala ddansi ssaako Ssegirinya okugabula abantu keeki.

 segirinya nabamu ku bantu ababadde ku kabaga nga bayimiridde ku limousine Ssegirinya n'abamu ku bantu ababadde ku kabaga nga bayimiridde ku limousine

“Ndidde tiyagaasi mungi kye kiseera okuwumulako. Ani yali amanyi nti Ssegirinya wabwe bino nyinza okubituukako Allah wa maanyi. Ng’ogyeko okwewumuzako, ndi mukusakira balonzi bange ab’e Kawempe North era wenjogera nabafunidde mmotoka kika kya Ambyulensi n’ebirala bingi nkomawo nabyo”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Note 220x290

Omugga Ssezzibwa guwagudde ne gutwala...

OMUGGA Ssezibwa gubooze ne gutwala omwana abadde agenze ne banne okuwuga. Omwana amazzi gwe gaatutte abadde agezaako...

Ramos4542051 220x290

Ramos mukoowu mu Real

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala