TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bugingo yejjusa obudde bwe yamala ne Teddy: Ayogedde lw'anaalaga omugole Makula

Bugingo yejjusa obudde bwe yamala ne Teddy: Ayogedde lw'anaalaga omugole Makula

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2019

Bugingo yagambye nti obudde bwe yamala ne Teddy Naluswa tekitegeeza nti yali musanyufu era wadde babadde baludde nga bafumbo tekitegeeza nti, Teddy ye mukazi we omutuufu.

Pala 703x422

Bugingo yagambye nti obudde bwe yamala ne Teddy Naluswa tekitegeeza nti yali musanyufu era wadde babadde baludde nga bafumbo tekitegeeza nti, Teddy ye mukazi we omutuufu.

Bugingo yejjusa nti yandibadde wa maanyi nnyo ssinga yalabukirawo n’amwesonyiwa ng’obudde tebunnayita .

Era yalumbye n’abamunenya okusuulawo amakaage amatiribona n’addukira mu muzigo n’ategeeza nti okudduka awaka kya bunnabbi era kya Bwakatonda kubanga omuntu akwewerera okukutta bw’otomudduka ne bw’akutta togenda mu Ggulu kubanga n’omuntu eyasooka okufa mu nsi eno Abeeri yattibwa mugandawe Kayini.

“Abo abandeekaanira okudduka mu nnyumba bagende basome ebyawandikibwa.

Famire bw’otogiviira esobola okukutta naddala omukazi nga yeegasse n’omwana era kyava dda mu byawandiikibwa.

Ebizibu abasumba abamu tebabirowoozaako badda mu ntalo nga balowooza banantwalako abantu bange. Naye ebyo byonna bamala biseera nze Katonda yanjiwako amafuta gonna”, bwe yeewaanye.

Wano kwe kulangirira nti mukazi we omugole ajja kumwanjulira abantu mu lukuhhaana e Namboole era n’asaba abalina abakazi nabo okujja n’abaabwe bannaabwe basobole okubalaba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.