TOP

Omugagga asimattuse okugajambulwa abatuuze

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2019

POLIISI n’amagye byayitiddwa bukubirire okutaasa omugagga abatuuze gwe baabadde baagala okutta bwe yakoonye ennyumba ya munnaabwe ng’amulumiriza okumubbira enkoko gye yabadde agenda okulya ekyemisana ku Mmande.

Gamba 703x422

Looya Simon Kizza omutuuze ku kyalo Mbugu mu Ggombolola y’e Gombe mu Wakiso Disitulikiti ye yalozezza ku bukambwe bw’abatuuze abaamutabukidde ne batuuka n’okumuyuliza engoye.

Entabwe yavudde ku kuba nti yapangisizza bakanyama ne bakoona ennyumba ya Martin Kabuuka 39, yonna n’egwa ku ttaka ng’amulumiriza okumubbira enkoko ye.

Kigambibwa nti Kizza yakedde ku makya n’anoonya enkoko era bw’ataagirabye kwe kubuuza ku muliraanwa we Kabuuka naye eyamutegeezezza nti yabadde tannagirabako.

Kigambibwa, Kizza teyamatidde ngeri Kabuuka gye yamuzzeemu era bwe yaganze yakomyewo na kibinja ky’abavubuka ne batandika okukoona enju ya Kabuuka. Mu kavuvvungano akazzeeko, ne Kabuuka yakubiddwa.

Abatuuuze bwe baakungaanye okulaba ekibadde, baasanze mutuuze munnaabwe avaamu omusaayi nga n’ennyumba ye abagikoonye badduse.

Wano abatuuze baalumbye amaka ga Kizza ne bamusanga ng’ayingira mu nnyumba ne bamusikambulayo ne batandika okumukuba okukkakkana ng’essaati n’empale bye yabaddemu babiyuzizza.

Ssentebe w’ekitundu kino, Deziranta Nabuto yavumiridde ekikolwa kya Kizza okukoona ennyumba ya munne n’agamba nti bulijjo enkoko zibadde zibula naye n’ezidda zokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kenzo 220x290

Kenzo alayidde obutaddamu kuyimbira...

Muzaata bwataneetondera sidda ku siteegi-Kenzo

Bukedde TV Live Stream

Bukedde TV Live Stream

Bk 220x290

Bukedde TV Live Stream

Laba wano Bukedde TV Live

Bukedde Tv Livestream

Bukedde Tv Livestream

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...