TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abagambibwa okutta omukadde e Masaka bakwatiddwa wakati mu bukuumi

Abagambibwa okutta omukadde e Masaka bakwatiddwa wakati mu bukuumi

By Ssennabulya Baagalayina

Added 8th May 2019

Abagambibwa okutta omukadde e Masaka bakwatiddwa wakati mu bukuumi

Mat1 703x422

Mugula (ku kkono) ne Abas (mu kinu) nga baggyibwa e Mpugwe okutwalibwa ku poliisi e Masaka.

ABATUUZE baatadde poliisi e Masaka ku bunkenke ng’ebaggyako abavubuka babiri be balumiriza okutta omukadde. Obunkenke buno bwabadde mu kabuga k’e Mpugwe ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka ng’eyatemuddwa ye mukadde Bruno Musaafiri.

Ssentebe wa LCI, Hajji Ahmad Kaboggoza n’oweebyokwerinda Leonard Lule bategeezezza nti omulambo gwa Musaafiri gwalabiddwa ku makya g’Olwokubiri nga guliko ebiwundu eby’amaanyi ku mutwe.

Baagasseeko nti bwe baabuulirizza, ne wabaawo abaasonze ku Godfrey Mugula Masada ne munne eyategeerekeseeko erya Abasi nti baabalabye ekiro nga bakuba Musaafiri. “Kiteeberezebwa nti Musaafiri yagezezzaako okwerwanako abeesimattuleko kyokka n’abulwa abamuyamba kubanga bangi batya abavubuka bano olw’okunywa enjaga,” bwe bakkaatirizza.

Abaakakiiko baatemezza ku poliisi y’e Mpugwe n’ekwata abavubuka bano wabula abatuuze olwakuhhaanye ne bagirumba bagiremese okubatwala e Masaka nti bababalekere nabo babeekolereko.

Poliisi yalabye abatuuze bafunze ekyonga, abaserikale ne bakookinga emmundu n’okuzigalula mu bbanga ekyabakakkanyizza ne bagyesega. Abaserikale baddusizzaawo abasibe n’omulambo ne guggyibwawo okutwalibwa mu ggwanika.

Abakwate baatwaliddwa ku poliisi e Masaka ng’abatuuze bwe bawera nti singa bakomawo ku kyalo nabo bajja kubatta!

Abatuuze beekokkodde enkola ya ‘Mwanawagundi’ nti y’ebasibyeko obuzzi bw’emisango ng’enjaga baginywa kyere n’okwenyigira mu bikolobero ebitali bimu ng’aboogerako gwe bambalira. Abatuuze basabye Gavumenti n’ababaka ba Palamenti obutayisa tteeka ery’okulima enjaga ekyere mu Uganda nti kijja kwongera okutabulatabula eggwanga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi