TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga eyafiira mu lyato bamuteereddeko omusika

Omugagga eyafiira mu lyato bamuteereddeko omusika

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2019

ABAGAGGA b’omu Kampala balaze amaanyi mu kwabya olumbe lwa munnaabwe Kisitu eyafiira mu kabenje k’eryato. Mu lumbe luno, abantu baasabiddwa okukumaakuma bamulekwa banyweze obumu n’okwekuumira mu by’obusika by’abazadde baabwe ne batabisaanyaawo.

Wano 703x422

Baategeezeddwa nti okutabukatabuka n’okweyabuluza okuli mu famire ezitali zimu mu nsangi zino oluusi kusigibwawo abantu abababeera ku lusegere nga babafukuutiriramu ebigambo.

Bino byayogeddwa mu kwabya olumbe lw’eyali omusuubuzi w’omu Kampala, George William Ssengendo Kisitu eyafiira mu lyato ku Mutima Beach e Mukono ne banne bwe baali.

Lwayabiziddwa ku kyalo e Kasasa East mu Ggombolola y’e Bukulula mu Kalungu ku lw’e Masaka.

Yasikiddwa mutabani we George William Ssengendo eyasumikiddwa Samuel Muwanga Ssaabwe.

Lwetabiddwaamu abagagga b’omu Kampala abaakuliddwa Omukungu wa Kabaka, Freeman Kiyimba Ssentebe w’ekibiina ekibagatta ekya Tussakimu, John Ssebalamu, Peter Ssegawa n’abalala.

Mmisa yayimbiddwa Rev. Fr John Baptist Kikomeko omuyambi w’omusumba John Baptist Kaggwa ne Bwannamu-kulu w’ekigo ky’e Bukulula Fr. Kamulegeya n’abalala.

Fr. Kikomeko yakalaatidde abantu nti amaanyi ge bassaamu nga banoonya eby’ensi baga-kozese ky’ekimu nga banoonya n’eggulu kuba buli afa agenda bwannamuginina mu maaso ga Katonda.

Abagagga b’omu Kampala naddala abaavudde mu Kikuubo, Nabugabo, Mini-Price n’ebitundu ebirala wamune famire ya Kisitu baatadde ssente mu lumbe luno era buli eyagenzeeyo yavuddeyo atenda engabula eyabad-deko n’empombo n’omwenge ogw’ebbeeyi okuli “Wayini” ogwagabuddwa mu bungi.

Nyanzi (mu katono) gwe baateereddeko omusika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...

Af09802412db404ba5f90092737e343c 220x290

Beeraze eryanyi mu mpaka za ddigi...

Bannayuganda bababuusizza 'ebibanda' mu mpaka za ddigi e Busiika

8501711138333059433538208315854187468423168o 220x290

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye...

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likodi y'ensi yonna

Writer 220x290

Omusajja yeetugidde ku buko!

OMUSAJJA agenze ku buko mukyala we gw’alinamu abaana mwenda gye yanobera ne yeetugira ku muti.