TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Male Mabiriizi awandiikidde Ochola omukuuku gw'ebbaluwa

Male Mabiriizi awandiikidde Ochola omukuuku gw'ebbaluwa

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2019

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga omukuuku gw’ebbaluwa ng’amusaba amukakase nti poliisi egenda kumuwa obukuumi ku ye nebintubye mu kiseera ky’agenda okumala ng’atalaaga eggwanga okusonda sente ezinaamuyamba mu musango gwe yawaabye mu kkooti ya East Africa.

Malemabiriizi2 703x422

Male Mabirizi ng'ali mu kkooti

Wiiki ewedde May 3, 2019 Mabiriizi yatudde omusango mu kkooti ya East African Kkooti Of Justice oguli ku nnamba 06/2019 ng’awakanya ensala ya kkooti ensukkulumu eyakakasa palamenti kye yakola okuggyawo ekkomo ku myaka gya pulezidenti.

Ebbaluwa yagiwandiise ku Mande n’ajjukiza poliisi nti okusinziira ku nnyingo 212(a) mu ssemateeka wa Uganda erambika obuvunaanyizibwa bwa Poliisi okukuuma omuntu n’ebintubye.

Ennyingo 29(1) (e) ewa abantu eddembe okukuba enkung’aana omuli n’ezookusonda sente ate 29(2) (a) emuwa eddembe okutambula mu buli kitundu kya Uganda nga takugiddwa muntu yenna.

Mu bbaluwa y'emu ategeeza nti ennyingo 43(2) (a) ne (c) erambika nti omuntu akola ekintu kyonna ku lw’obulungi bw’eggwanga talina kutulugunyizibwa lwa byabufuzi wadde okukugirwa okwenyimiriza mu ddembelye nga bwe lirambikibwa mu ggwanga eririna demokulasia.

“Okwesigama ku nsonga ezo waggulu nsaba ompe obukakafu nti nja kufuna obukuumi nze n’ebintu byange okuva mu kitongole ky’okulira” Mabiriizi bwe yaggumizza n’agamba nti asuubira okutalaaga munisipaali awamu ne Town Council  50 okwetoloola eggwanga.

Yategeezezza nti ebifo waagenda okukuba enkung’aana waakubitegeeza poliisi n’obudde bw’anabeerawo nga tannaba kusitula kugendayo era wekisoboka enkiiko waakuzikolera mu bisenge ebinene omukolerwa emikolo nga n’abantu okuyingira balina kumala kwewandiisa.

Ezimu ku nsonga Mabiriizi ze yawadde ng’awaaba yategeezezza nti:

  • Abantu baabulijjo bammibwa omukisa okwetabamu okukyusa ssemateeka.
  • Waaliwo okukozesa ekifuba n’okutyoboola eddembe ly’abantu ekyaleetera amagye ne poliisi okuyingira mu palamenti ne gakwata n’okusiba ababaka.
  • Okulemwa okugoberera amateeka n’emitendera palamenti gy’eyitamu okukyusa ssemateeka.
  • Sipiika Kadaga okuwolereza pulezidenti etteeka aliteekeko omukono nga lyawukanna kw’eryo ababaka lye baakubaganyaako ebirowoozo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...