TOP

Teddy talina mmizi - Paasita Bugingo

By Musasi wa Bukedde

Added 9th May 2019

Teddy talina mmizi - Paasita Bugingo

Bug2 703x422

Bugingo ne bakyala be bombi

Bugingo yayongedde okwogerera mukazi we Teddy Naluswa amafuukuule n’agamba nti ensonga endala lwaki tasobola kumuddira ne bw’asaddaaka enjiibwa, talina mmizi.

Yagambye nti, ng’omukazi omufumbo alina abaana abakuleetedde ne ku bako b’oswalira, teyandigenze mu mawulire kwanika buziina bwe buli omu n’amanya ebifa mu maka ge. Yagambye nti, ye ng’omuntu omukulu, tasobola kugumiikiriza muntu alinga Teddy.

Yagambye nti abakazi ab’emmizi Teddy be yandibadde ayigirako mu Bayibuli bangi nnyo naye teyawa budde kusoma ku ngeri gye baakwatangamu bintu, obudde bwe yabumalanga mu kulingiriza na kuwalampa bba.

Yagambye nti, amwewuunya okusuulawo Bayibuli n’asalawo okumalira obudde ku mikutu gya yintanenti, amawulire n’abasumba abamulwanyisa abatayinza wadde okumuyamba. Bugingo yali yalayira obutaddamu kwogera birumya famire ye wabula kino yalabika ng’eyakivuddeko kuba okuva olwo akyamulumba.

Kyokka Teddy azze alumiriza nti Bugingo bino byonna abikola kuwugula bagoberezi atere awase omukazi omulala naye ye tafaayo kuba tajja kukkiriza kugattululwa.

Bbo abantu wadde bino weebiri ng’era abamu balina n’oludda lwe bagwako wakati wa Bugingo ne Teddy, tebasalangako kugenda kusaba.

N’eggulo, baabaddeyo bangi ddala era bakira buli Bugingo lw’afulumya ekigambo ekikoona mukazi we nga basaakaanya.

Waliwo abamu abatakyagwa kusaba wa Bugingo abanyumirwa okuwulira engeri Bugingo gy’akolokota mukazi we. Bugingo yasuubiza okuleeta ekipya bw’anaaba atandise ekisiibo era ekipya kye yasuubiza abantu, bangi bakirindiridde nga mbaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.