TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusamize akwatiddwa n'obuwanga bw'abantu busatu mu ssabo e Mityana

Omusamize akwatiddwa n'obuwanga bw'abantu busatu mu ssabo e Mityana

By Musasi wa Bukedde

Added 10th May 2019

Omusamize akwatiddwa n'obuwanga bw'abantu busatu mu ssabo e Mityana

Mit1 703x422

Omusamize ng'akutte akamu ku buwanga obusangiddwa mu ssabo lye

POLIISI e Mityana ng'eyambibwako amagye ne wofiisi ya RDC bagadde essabo lya Godfrey Luyombya Sipaya lwa kuteberezebwa kwenyigira mu bikolwa by'okusadaaka.

Luyombya (76) mutuuze wa Zigoti East mu ggombolola ye Malangala mu disitulikiti ye Mityana.Yasooka kubeera muwandiisi wa Kigo kya Kyengeza Parish oluvanyuma nadda mukusamira.

Akwatiddwa n'abakongozi be 10 mu kikwekweto kya poliisi ekyokukwata abasadaaka abaana.

Omukwate asangiddwa n'obuwanga bw'abantu obusoba mu busatu n'amagumba gabantu nga bino bisimiddwa okuva mu masabo ge.

 
Omwogezi wa Poliisi ye Wamala Nobert Ochom agambye nti Luyombya wakutwalibwa mu kkooti awerenembe nemisango gy'okusadaaka.

Capt.Yahaya Kakooza(RDC) ategezezza nti okukwata Luyombya basooka kufuna kwemulugunya okuva Ku kyalo nga bwewaliwo abantu abagendayo okubajanjaba nebabulira mu ssabo lye.

Yagaseeko nti Luyombya wakunyonyola nekungoye z'abantu ezasangiddwa mu ssabo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’