TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ezudde omulambo oguli mu ssuuti mu kibira

Poliisi ezudde omulambo oguli mu ssuuti mu kibira

By Musasi wa Bukedde

Added 10th May 2019

Poliisi ezudde omulambo oguli mu ssuuti mu kibira

Jip2 703x422

ABATEMU abatannategeerekeka basse omusajja mu bukambwe omulambo ne bagusuula ku kibira. Baaguzudde mu kibira ky’e Nswanjere mu ggombolola y’e Muduuma mu Mpigi ku luguudo lw’e Mityana.

Abaana abaabadde bagenda e Muduuma be baalabye omulambo gw’omusajja ng’ayambadde esuuti enzirugavu nga gukwekeddwa mu nsiko ne batemya ku batuuze abaayise poliisi y’e Jjeza.

Poliisi y’e Jjeza ne Mityana bazze ne basanga omulambo nga gutandise okuvunda nga ne ffeesi ye tekyategeerekeka. Yabaddeko ebisago bingi ku mubiri nga n’;amagulu gamenyese nga kirabika abaamusse baasoose kumutulugunya ne bamutuga. Abatuuze baategeezezza nti omusajja ono tamanyiddwa mu kitundu nga kirabika abaamusse balina gye baamuwambye.

Endabika y’omusajja wa buvunaanyizibwa nga yandiba nga yawambiddwa okuva mu kitundu ekirala ne bamusuula mu kibira nga bamaze okumutta.

Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Joseph Tulya yagambye nti abatemu bandiba ng’omugenzi bamuggyeeko ebimwogerako olwo ne bamusuulawo n’asaba abaabuliddwaako omuntu waabwe okugenda mu ddwaaliro e Mityana bakebere ku mulambo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lobe 220x290

Owa bbooda eyalaba eyatemula Nagirinya...

OWA boda eyavuganga ddereeva wa Nagirinya, Ssaalongo Ronald Kitayimbwa, ayogedde bwe yayitibwa poliisi y’e Katwe...

Twala 220x290

Kayihura nnatti za Amerika zimunyize...

GEN. Kale Kayihura alaajanye ku nnatti za Amerika, bw’ayise mu bannamateeka be ne bakola enteekateeka okusisinkana...

Funanga 220x290

Abaserikale abayambye Amerika okufuna...

OBUMU ku bujulizi Abamerika bwe beesigamyeko okussa nnatti ku Gen. Kale Kayihura, baabuggye mu lipoota eyakolebwa...

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....