TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ennyumba Bugingo gye yazimbidde Omugole Suzan etabudde abagoberezi

Ennyumba Bugingo gye yazimbidde Omugole Suzan etabudde abagoberezi

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2019

Amatiribona Bugingo gy’azimbira omugole Susan Makula Nantaba e Namayumba mu Wakiso etabudde abagoberezi abamu ne ne batuuka n’okumuteeka ku nninga annyonnyole gye yaggye ssente.

Bujingo2 703x422

Abagoberezi naddala abakadde b’e kkanisa bamulumiriza nti yavudde ku mulamwa gwa Katonda kati akola ye bimuwa ssanyu mu kifo ky’okusooka okuzimba ennyumba ya mukama, asooka atya okuzimbira omukazi omulala bbo gwe baayise ‘Malaaya’.

Bukedde bwe yalaga ennyumba Bugingo gy’azimba e Namayunba etudde ku bugazi bw’ettaka bwa yiika 10, Bugingo yavaayo n’ategeeza abagoberezi nti, ennyumba gye baalabye mu mawulire terina kubakanga, ye musajja mugagga akawumbi ka ssente tekakyasobola kumwetakuza buziizi.

Kyokka abagoberezi kino balabika nga tebaakimatidde era bagamba nti obugagga bwe yeewanniramu , yandibadde asooka kubulagira ku nnyumba ya mukama ne bakoma okukubwa enkuba n’okwokebwa omusana nga basaba.

Bugingo ayagala kuzimba kkanisa gye yatuuma Pentagon era agamba nti, pulaani yaayo, ya bukadde 650 okugikuba ate okugizimba, yetaaga obuwumbi 70.

Zino yatandika okuzisonda ennaku 100 eziyise n’akungaanya ssente ezisoba mu kawumbi wabula ebiva mu bagoberezi mu kkanisa biraga nti abamu si basanyufu era tebandyagadde kusonda ssente ng’omusumba azimalira ku mukazi gw’ayendako.

Ennyumba ya Bugingo eyavuddeko kalumanywera, ekubisaamu gye yali asulamu ne mukazi we omutongole Teddy Naluswa Bugingo eri e Bwebajja ku lw’e Ntebe emirundi nga esatu obunene n’ebbeeyi.

Kigambibwa nti emu ku nsonga lwaki Bugingo apapa okulangirira n’okuwasa Susan kwe kuggyawo ebyogerwa nti ali mu bwenzi era omusimbi gwonna agusaasaanyirizza ku mukazi ow’ebbali.

Ku nnyumba abagoberezi baagasseeko n’enyiike ku bwannannyini bw’ekkanisa ne Salt Media Bugingo bye yakyusizza obwannanyini mu kitongole kya Gavumenti ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa amakampuni ekya Uganda Registration Service Bureau (URSB).

Bukedde eggulo yafulumizza ebikwatagana ku bwannanyini bwa Salt Media n’ekkanisa ya HPM nga biraga nti, Bugingo yewandiisizzaayo nga Dayirekita wabyo yekka abantu kye bagamba nti ssente ezaabitandika Bugingo yaziggya mu bbo ng’abamatiza nti bintu byabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.