TOP
  • Home
  • Amawulire
  • NRM eraze obuwanguzi bw’etuuseeko mu myaka esatu

NRM eraze obuwanguzi bw’etuuseeko mu myaka esatu

By Kizito Musoke

Added 11th May 2019

EKIBIINA kya NRM kiraze obuwanguzi bwe kituseeko mu myaka esatu mwe basoboledde okutuukiriza ebitundu 62 ku buli 100 ku bintu bye baasuubiza mu manifesito ya 2016-2021.

D5358hpw0aiqgqa 703x422

Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda yasinzidde ku Media Centre ng’atongoza wiiki ya Manifesito ya NRM eyatandise nga May 9, okutuuka nga May 23 ng’egenda kutambulira wansi w’omulamwa ogugamba nti; ‘okutuusa Uganda ku nkulaakulana nga bayita mu kutondawo emirimu n’enkulaakulana eyaawamu’.

Enkya ku Ssande nga May 12, lwe gigenda okuwera emyaka esatu bukya Pulezidenti Museveni n’ekibiina kya NRM balayira kuddamu kukulembera eggwanga. Kyaddirira okuwangula okulonda okwaliwo nga February 18, 2016.

Rugunda yategeezezza nti Gavumenti etambulira ku mulamwa omutuufu kuba esobodde okutuukiriza ebintu ebisinga bye yasuubiza Bannayuganda.

“Mu kiseera kino eky’emyaka esatu tusobodde okutuukiriza bye twasuubiza ebiwera ebitundu 62 ku buli 100 nga n’ebisigadde bijja kukolwako mu myaka ebiri egisigaddeyo,” Rugunda bwe yagambye.

Okutandika ne Mmande minisitule n’ebitongole bya Gavumenti bijja kuba bibuulira eggwanga emirimu gye bakoze, okusoomoozebwa kwe basanze n’amakubo ge bataddewo okubivvuunuka.

Obumu ku buwanguzi obutuukiddwaako mulimu; okutongoza ebbibiro ly’amasannyalaze erye Isimba, okuzzaawo eggaali y’omukka, eddwaaliro ery’omulembe erijjanjaba endwadde z’abakazi, olutindo lw’okumugga Kiyira e Jinja n’oluguudo lwa Entebbe Express Highway.

Ebirala mulimu okuzimba amakolero era pulezidenti Museveni abadde alabibwa mu myezi egiyise ng’atongoza amakolero.

Amakolero gano gawadde Bannayuganda emirimu, gasasula emisolo n’ebintu bye gakozesa bikolebwa wano mu ggwanga.

Mu byenjigiriza Gavumenti eyongedde okuzimba amasomero ga siniya mu buli ggombolola.

Ebyobulimi bifiiriddwaako kuba kimanyiddwa nti bye biwaniridde ebyenfuna by’eggwanga.

Abalimi baweereddwa eddagala ly’okufuuyira ebiwuka, ensigo, ebisolo n’okubaweereza abalimisa.

Enkola ya Bonnabagaggawale eya Operation Wealth Creation esobodde okugabira abantu ensigo za Cocoa, Citrus, amajaani, emiyembe, emicungwa ne apples.

“Kino kiyambye okwongera ku bungi bw’emmwaanyi kuba ensawo ezitundibwa ebweru w’eggwanga zeeyongedde okuva ku bukadde obusatu n’ekitundu okutuuka ku bukadde obuna n’emitwalo 10. Eggwanga liyingiza obukadde bwa ddoola 490 okuva mu mmwaanyi,” Rugunda bwe yategeezezza.

Kyokka okusoomooza okunene okukyaliwo bwe buzibu bwe basanga okufuna ettaka ly’okukolerako emirimu egyenjawulo.

Okuliyirira abantu kwa bbeeyi era olumu kireetedde pulojekiti nnyingi okwesiba.

Rugunda yayogedde ku kizibu ky’enguzi, n’alaga kaweefube ayongeddwaamu ekitongole ekikulemberwa Lt. Col. Edith Nakalema kye yagambye nti kikoze omulimu mulungi.

EKIBIINA kya NRM kiraze
obuwanguzi bwe kituseeko mu
myaka esatu mwe basoboledde
okutuukiriza ebitundu 62 ku buli
100 ku bintu bye baasuubiza mu
manifesito ya 2016-2021.
Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana
Rugunda yasinzidde ku
Media Centre ng’atongoza wiiki
ya Manifesito ya NRM eyatandise
nga May 9, okutuuka nga May
23 ng’egenda kutambulira wansi
w’omulamwa ogugamba nti; ‘okutuusa
Uganda ku nkulaakulana
nga bayita mu kutondawo emirimu
n’enkulaakulana eyaawamu’.
Enkya ku Ssande nga May 12,
lwe gigenda okuwera emyaka
esatu bukya Pulezidenti Museveni
n’ekibiina kya NRM balayira kuddamu
kukulembera eggwanga.
Kyaddirira okuwangula okulonda
okwaliwo nga February 18,
2016. Rugunda yategeezezza nti
Gavumenti etambulira ku mulamwa
omutuufu kuba esobodde
okutuukiriza ebintu ebisinga bye
yasuubiza Bannayuganda.
“Mu kiseera kino eky’emyaka
esatu tusobodde okutuukiriza
bye twasuubiza ebiwera ebitundu
62 ku buli 100 nga n’ebisigadde
bijja kukolwako mu myaka ebiri
egisigaddeyo,” Rugunda bwe
yagambye.
Okutandika ne Mmande minisitule
n’ebitongole bya Gavumenti
bijja kuba bibuulira eggwanga
emirimu gye bakoze, okusoomoozebwa
kwe basanze n’amakubo
ge bataddewo okubivvuunuka.
Obumu ku buwanguzi obutuukiddwaako
mulimu; okutongoza
ebbibiro ly’amasannyalaze
erye Isimba, okuzzaawo
eggaali y’omukka, eddwaaliro
ery’omulembe erijjanjaba
endwadde z’abakazi, olutindo
lw’okumugga Kiyira e Jinja
n’oluguudo lwa Entebbe Express
Highway.
Ebirala mulimu okuzimba amakolero
era pulezidenti Museveni
abadde alabibwa mu myezi egiyise
ng’atongoza amakolero.
Amakolero gano gawadde
Bannayuganda emirimu, gasasula
emisolo n’ebintu bye gakozesa
bikolebwa wano mu ggwanga.
Mu byenjigiriza Gavumenti
eyongedde okuzimba amasomero
ga siniya mu buli ggombolola.
Ebyobulimi bifiiriddwaako kuba
kimanyiddwa nti bye biwaniridde
ebyenfuna by’eggwanga.
Abalimi baweereddwa eddagala
ly’okufuuyira ebiwuka, ensigo,
ebisolo n’okubaweereza abalimisa.
Enkola ya Bonnabagaggawale
eya Operation Wealth Creation
esobodde okugabira abantu
ensigo za Cocoa, Citrus, amajaani,
emiyembe, emicungwa ne apples.
“Kino kiyambye okwongera
ku bungi bw’emmwaanyi kuba
ensawo ezitundibwa ebweru
w’eggwanga zeeyongedde okuva
ku bukadde obusatu n’ekitundu
okutuuka ku bukadde obuna
n’emitwalo 10. Eggwanga liyingiza
obukadde bwa ddoola 490 okuva
mu mmwaanyi,” Rugunda bwe
yategeezezza.
Kyokka okusoomooza okunene
okukyaliwo bwe buzibu
bwe basanga okufuna ettaka
ly’okukolerako emirimu egyenjawulo.
Okuliyirira abantu kwa bbeeyi
era olumu kireetedde pulojekiti
nnyingi okwesiba. Rugunda
yayogedde ku kizibu ky’enguzi,
n’alaga kaweefube ayongeddwaamu
ekitongole ekikulemberwa
Lt. Col. Edith Nakalema
kye yagambye nti kikoze omulimu
mulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi