TOP

Bugingo azzeemu okulengezza mukyalawe Teddy

By Musasi wa Bukedde

Added 12th May 2019

PAASITA Aloysius Bugingo ayongedde okusoomooza mukazi we Teddy Naluswa n’amugamba nti, bwe yeeraba obunene, talowooza nti, abatono alina ky’abasinga.

Babugingo703422 703x422

Yagambye nti, omubiri Naluswa gw’alina, alowooza w’amaanyi nnyo nti, asobola okulinnya abalala ku mitwe ne batabaako kye banyega n’akamutema nti, bw’amulaba obutono talowooza nti wa kujoogebwa aleme kwerwanako.

“Omanyi njagala nnyo olulimi Oluganda kubanga lulimu ebigambo bingi eby’amakulu ky’ova olaba baagera nti, akasajja akatono akanyoomera mitala wa mugga kubanga bw’okasemberera kayinza okukumegga kati ne Teddy adda eyo omubiri ne gumulimba kyokka tamanyi nti, baamumegga dda!” Bugingo bwe yakoonye Teddy ng’ayita mu ngero.

Bugingo yabadde mu lukuhhana lw’okusaba kw’okuyita mu kiro ku Lwokutaano olwabadde ku kkanisa ya House of Prayer Ministries International e Makerere era obwedda ayogera bino byonna ng’abagoberezi bakuba enduulu nga bwe boogerera waggulu nti ‘Ssebo omunnyo gunoze yongera’ ate abalala nga bwe basaakaanya nti, ‘ky’ekyo ddadi ate ku luno bya ddala tebalowooza nti, olimba oli ku mulamwa’.

Bugingo era yazzeemu okunenya Teddy n’ategeeza nti, yakola nsobi nnene okuddukira mu basumba abamulwanyisa kubanga yabawa oluwenda we bayitira okusaanyaawo ekkanisa ye kubanga bulijjo yasirika nga baabulwa ekkubo we bayitira wabula n’ategeeza nti wadde balwana naye tebasobola wadde okuweza amakkati g’abantu b’alina era bwe baba beewulira nti bamusobola bajje beepime eryaanyi mu kisaawe e Namboole.

Bugingo yayongeddeko nti ye omweyogereze tasobola kumusuuza kayanzi ke era enteekateeka zonna z’alina wa kugenda nazo mu buli mbeera wadde ayita mu kusoomoozebwa okwamaanyi naye amanyi ky’ayagala era wadde bino byonna yabadde abyogerera mu ngero naye abantu obwedda bamutegeera nga bbo bongera kuwaga nti ‘ddadi genda mu maaso n’ez’embaga tujja kuzisonda gwe kirumye agende yeetuge.

Yayongeddeko nti naye takyewuunya kubanga buli lw’abeerako n’ekintu ky’alangirira okukola ekyamaanyi wabaawo entalo ezibalukawo nga bwe yalangirira okugula ettaka lya Canan, abasumba bangi abamuggulako olutalo nga bakoze leediyo zaabwe nga balowooza anaalemwa naye tekyasoboka nti kati ne ku luno bwe yalangiridde okuzimba Pentagon sitaani yayitidde mu mukyala we Teddy naye tebajja kumusobola ne bwe banaabeera mu bibinja kubanga kino kitono nnyo ku ye alina Katonda.

AZZEEMU OKULUMBA SSENYONGA

Bugingo omudumu yazzeemu okugutunuza mu musumba munne Jackson Ssenyonga n’amuteegeza nti, bw’amuyita omusumba omubbi akimanye y’asinga obubbi era bw’akola kampeyini y’okuyita abantu b’abbye ayinza n’okubulwa w’abateeka kubanga buli eyali ayingiddeko mu kkanisa ye amukaaba.

“Otunuulira abantu nga Ssenyonga ne bakusobera kubanga oyo bwe kuba kufa yafa dda ate nze sirwana na bafu.

Wadde ampita omubbi era nabbi w’obulimba naye agende mpola kubanga nze sikakangako bantu kuwaayo ssente zonna basigazeemu zibazza waka nga ye bw’akola mu kkanisa ye ate agende mpola kubanga bwe hhamba kuyita bantu be yabba sisobola na kufuna we mbateeka” Bugingo obwedda bw’awanda omuliro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono