TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannamateeka bakubye ebituli mu bya Bugingo okwawukana ne Teddy

Bannamateeka bakubye ebituli mu bya Bugingo okwawukana ne Teddy

By Musasi wa Bukedde

Added 12th May 2019

BANNAMATEEKA batapuse eky’Omusumba Aloysius Bugingo okukyusa obwannannyini bw’ekkanisa n’emikutu gya Salt Media bwe yaggye mukazi we Teddy Naluswa Bugingo ne bawala baabwe Winnie Tresure Bugingo ne Doreen Kirabo Bugingo.

Kip2703422 703x422

Paasita Bugingo

Steven Ssenkeezi agamba nti, Bwe kiba nga House of Prayer yawandiisibwa nga kkampuni kitegeeza nti, dayirekita omu tasobola kutuula n’asalawo okugoba omuntu mu kkampuni.

Akulira kkampuni ne bw’oba nga ggwe asinga emigabo emingi mu kkampuni tosobola kusalawo ku lwa kkampuni ng’olukiiko olufuzi terutudde kusalawo.

Buli kintu ekisalibwawo mu kkampuni kirina kuba nga kikkiriziganyiziddwaako olukiiko olufuzi era kino kissibwa mu buwandiike ne kitwalibwa mu kitongole kya Gavumenti ekikola ku biwandiiko ekya Uganda Registration Services Bureau (URSB).

Asuman Basalirwa; Olukiiko olufuzi nga terunnatuula, omuwandiisi wa kkampuni asooka kuwandiikira badayirekita baayo n’amutegeeza ku lukiiko luno ng’ekyabulayo ennaku.

Ateekwa okubategeeza ebigenda okuteesebwako era kino bwe kitakolebwa, ebisaliddwaawo bibeera wabweru w’amateeka.

Abatuula ku lukiiko olufuzi era basobola okubeera nga be balina emigabo mu kkampuni naye omuntu omu tasobola kusalirawo balala nga tebasoose kutuula ne bakikkaanyaako.

Radislus Rwakafuzi, omukyala bw’aba ng’asobola okulaga kkooti n’agikakasa nti, okumuggyako emigabno gye mu kkampuni kyakolebwa mu mutima mubi awo asobola okuggulawo omusango mu kkooti.

Era bwe kiba nga waliwo kkampuni eyasooka okuggulibwawo ng’alinamu emigabo ne gimuggyibwako oba kkampuni n’emala gasaanyizibwawo era akyasobola okugenda mu kkooti kubanga olukiiko olufu olwa kkampuni bwe luba terwatuula kusalawo nti kkampuni eggalwe, omuntu omu yekka takkirizibwa kusalawo ku lulwe n’aggalawo kkampuni ku lwa banne.

Naye engeri gy’eri nti, kkanisa kiba kizubu okuba nga baagiwandiisa nga kkampuni.

Ekkanisa zitera kuwandiisibwa nga ekitongole ekya nnakyewa (NGO) naye ate zirina okubeera ne bammemba abali ku lukiiko olufuzi nga ne wano bammemba basooka kutuula ne basalawo ekirina okukolebwa olw’obulungi bw’ekkanisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.