TOP

Jamiru Mukulu yeegaanye looya mu kkooti

By Alice Namutebi

Added 12th May 2019

JAMIR Mukulu ali ku misango gy’obutujju n’okubeera emabega w’abayeekera ba ADF yeegaanye looya mu maaso g’omulamuzi, Eva Luswata bwe yabadde akomezeddwaawo mu kkooti.

Jamilmukulu 703x422

Jamiru Mukulu (ku kkono) mu kkooti n’abasibe abalala.

Looya wa gavumenti bwe yabadde ayanjula balooya abali mu musango guno yayanjudde looya Fredrick Kalule ng’omu ku balooya abawolereza Mukulu kyokka Mukulu n’awanika omukono n’ategeeza omulamuzi nti oyo looya tamuwangako buyinza bumuwolereza era tamumanyi.

Anguzu yazzeemu okwetegereza ebiwandiiko ne yeetonda ng’agamba nti musango bwe gwali gutandika Kalule yali omu ku balooya ba Mukulu era yabadde asomye mpapula nkadde.

Abasibe abalala abavunaanibwa ne Mukulu nabo baalaze omulamuzi Luswata obutali bumativu n’engeri gavumenti gy’ekuttemu omusango n’obulamu bwabwe. Musa Muku Donchu Nabangi yagambye omulamuzi nti; Oweekitiibwa walagira bampe obujjanjabi naye sibufunanga.

Bwe nnali nkyali e Nalufenya aba poliisi bankuba ensigo emu n’efuna ekizibu era nkyali mu bulumi obw’amaanyi.

Bantwala mu ddwaaliro ne bankuba ebifaananyi mu kugulu okunnuma naye bwe byakomawo tebantegeeza kikyamu kikuliko era siddangamu kufuna bujjanjabi.

Ate ye Abdul Rashid Kalaga yategeezezza omulamuzi nti baamukwata mu 2018 ne bamutwala mu kkooti e Jinja gye bamuggulako emisango gy’obutemu n’obutujju kyokka ne bagimuggyako kyokka ate n’addamu okukwatibwa ku misango gye gimu.

Omulamuzi Luswata yagambye ab’amakomera nti tajja kugenda mu maaso na musango guno nga bamuleetera abasibe abalwadde. Yalagidde balooya ba Musa okuwandiikira akulira amakomera bamutegeeze ekiragiro ky’awadde eky’okutwala omusibe mu ddwaaliro.

Omulamuzi yagambye nti nga August 30, 2019 lw’agenda okuwa ensala ye oba nga akkiriziganya n’obujulizi bw’oludda oluwaabi nti busobola okutwala omusango mu maaso.

Mukulu avunaanibwa emisango egisoba mu 20.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze