TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obulippo Bugingo bw’ayolekedde mu kwawukana ne mukyala we

Obulippo Bugingo bw’ayolekedde mu kwawukana ne mukyala we

By Musasi wa Bukedde

Added 13th May 2019

Obulippo Bugingo bw’ayolekedde mu kwawukana ne mukyala we

Bug2 703x422

Bugingo ng'ali ne mukyala we Teddy gweyadduseeko

PAASITA Aloysius Bugingo yatandise ku nteekateeka z’okwawukana ne mukyala we Teddy Bugingo mu mateeka (divorce) bwe yalangiridde mu kkanisa nti yawaabye mu Kkooti kyokka ayolekedde obulippo obuzibu mukaaga bw’alina okuyitamu okusobola okwawukana asobole okuwasa omukazi omulala.

Okusinziira ku mateeka ga Uganda agayitibwamu okugattululwa, Bugingo kiyinza okumutwalira ebbanga kumpi lya mwaka okuyita mu mitendera gy’okusazaamu obufumbo bwe ne Teddy Naluswa Bujingo gw’agamba nti yamukoowa dda, asobole okuwasa Suzan Nantaba Makula.

Amateeka galagira bino: 1 Omusajja oba omukazi bw’awulira ng’ayagala kwawukana ne munne alina okutwala okusaba kwe mu kkooti z’amateeka. Nga bwe kiri ku misango emirala, kkooti erina kubeera mu kitundu abafumbo mwe babeera.

Abafumbo bombi bwe babeera nga baddugavu (Africans) omusango guwaabwa mu Kkooti Ento, kyokka omu bw’abeera nga si muddugavu gulina kuwaabwa butereevu mu Kkooti Enkulu. Kano akalippo Bugingo alabise obutasangawo buzibu bunene.

2 Kkooti okutuuka okukkiriza abafumbo okugattululwa esooka kukakasa nti obutakkaanya bwabwe bususse nga tebakyasobola kubeera bombi.

Mu mbeera eno, Bugingo alina okukakasa kkooti nti tebakyasobola kutabagana era tebakyasobola kubeera bombi. Wano alina okusiitaana kubanga omukazi alaga nti yamusonyiye byonna era amulindiridde adde eka batambuze amaka.

3 Ayagala okwawukana y’ateekayo omusango ng’aloopa mukazi we (oba bba) era n’asaba kkooti ebagattulule. Mu mbeera eno Bugingo y’alina okuwawaabira Teddy Naluswa ng’alaga ensonga ez’essimba lwaki balina okwawukana.

Bugingo kijja kumwetaagisa okuwa Kkooti ebiwandiiko ebiwagira okusaba kwe omuli n’ensonga era ng’aziwerekeza obujulizi n’abajulizi. Ssente z’okuwaaba zirina kubeera 6,000 era nga zirina kusasulwa mu bbanka era lisiiti kw’osasulidde n’ogiteeka ku mpaaba.

Ekya ssente tajja kukisangamu buzibu naye ensonga kw’asinziira okusaba baawukane we wajja okubeera enkalu kubanga eby’okubba ettaka ly’Ekkanisa, obunafu n’okubeera ne “ffi ga” yokka ng’ebirala talina, biyinza okwanguyira oludda lwa Teddy okubikubamu ebituli.

4 Omuwaabi oluvannyuma afuna ebbaluwa eziyita gwe yasoowaganye naye okuteekayo okwewozaako kwe oba nga bamuyita okweyanjula mu kkooti ku lunaku olubeera lumuweereddwa. Ebbaluwa alina kuzimuwa mu bbanga eritasukka nnaku 21 nga zifulumiziddwa.

5. Oluvannyuma lw’okukwasa omuwawaabirwa empapula, omuwaabi alina okuwandiika ng’annyonnyola emitendera gyonna gye yayiseemu okuwa omuwawaabirwa empapula. Oluvannyuma lw’oyo gwe bawaabidde (Teddy) okufuna empapula za kkooti kijja kumwetaagisa okuteekayo okwewozaako kwe mu nnaku 15.

By’addamu kulina okubeerako obujulizi bw’ebiwandiiko, abajulizi n’obujulizi obulala obwesigika bw’aba ng’awakanya eky’okwawukana. Wano nawo Bugingo ayolekedde akaseera akazibu kubanga Teddy awakanya okwawukana so ng’omusajja amaze okukyoleka nti yafunyeeyo omukazi omulala era ng’oludda lwa Teddy lusobola okunnyonnyola kkooti nti tewali nsonga ebaawuukanya okuggyako okwagala okuwasa omulala.

6 Oluvannyuma kkooti eyita enjuyi zombi n’ebatuuza nga bagenderera okubatabaganya. Boogera ku nsonga ezaatabula abafumbo era ne bawa amagezi ku ngeri obuzibu buno gye busobola okugonjoolwa.

Ssinga okuteesa kugaana, oluvannyuma kkooti ebatuuza ne bakkaanya ku nsonga kkooti z’erina okwesigamako mu musango. Oludda oluwaabi n’oluwawaabirwa balaga engeri gye baagala kkooti ekwate ensonga z’obufumbo bwabwe.

Bwe kiggwa omuwaabi addamu n’awaaba omusango mu kkooti era n’awaako omuwawaabirwa kkopi ng’amutegeeza w’atuuse. Okuwulira omusango oluvannyuma kutandika. Ssinga omuwawaabirwa alemwa okuwaayo okwewozaako mu nnaku 15, omuwaabi abeera wa ddembe okusaba kkooti ewulire oludda lwe lwokka.

Mu kuwulira omusango, kkooti erina okufuna obujulizi okuva ew’omuwaabi n’omuwawaabirwa. Kkooti ewa enjuyi zombi ekiseera kya myezi mukaaga nga ssinga giggwaako nga tebatabaganye, kkooti eddamu n’efuna okusaba okulala okuva ew’omuwaabi ng’asaba bagattululwe.

Bugingo bw’anaawasa Makula nga tayise mu mitendera egyo, Teddy aba asobola okubaggulako omusango bombi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.