TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Luwalira ayogedde ku njiri eyogera ku mirimu egivaamu ensimbi

Bp. Luwalira ayogedde ku njiri eyogera ku mirimu egivaamu ensimbi

By Musasi wa Bukedde

Added 13th May 2019

Bp. Luwalira ayogedde ku njiri eyogera ku mirimu egivaamu ensimbi

Lip2 703x422

Omulabirizi Kityo Luwalira (wakati), Mukyala we Faith Luwalira (ku ddyo) ne Rev. Canon William Ongeng nga bali mu kutendereza.

OMULABIRIZI w’e Namirembe, Rt. Rev. WilberForce Kityo Luwalira avumiridde ababuulizi b’enjiri abatayagala kukola n’akuutira Abakristaayo okweggyamu obunafu bakole nnyo ensangi zino obudde baleme kubumalira mu kusaba kwokka n’okukoleramu ebitagasa.

Bino yabyogeredde mu lukung’aana lw’enjiri e Namirembe olwategekeddwa ekitongole ekibuulizi ky’enjiri ekikulemberwa Rev. Samuel Muwonge era ng’olukung’aana luno lwetabiddwaako abantu ab’enjawulo okwabadde Minisita Beti Namisango Kamya, sipiika w’olukiiko lwa Buganda, Patrick Luwagga Mugumbule, Ven Jonathan Kisawuzi nga ye Ssaabadinkoni w’e Ntebe, Ven. Godfrey Buwembo, Canon Benon Kityo n’abaweereza abalala.

Bp. Luwalira yennyamidde olw’abantu okulowooza nti bwe balokoka buli kimu kibeera kiwedde ne beerabira okukola emirimu egibayimirizaawo. Yakubirizza ababuulizi b’enjiri nti babuulire abantu enjiri ey’okukola.

Yagambye nti abalokole balina okunyweza ekigambo ky’okukola kuba omuntu asabiriza atama. Yayongedde n’akuutira abantu okukomya okwemanyiiza ebikolwa ebitali bya Bwakatonda omuli okuwemula, obwenzi n’obubbi kuba bijja kubatwala mu kuzikirira. Yakuutidde Abakristaayo okutya Katonda n’abawa ekyawandiikibwa ekya Timoseewo 4:7 n’agamba nti kino kijja kubayamba mu biro bino n’ebirijja nga batuuse mu Bwakabaka bwa Katonda.

Yavumiridde omuze abantu ogw’okwonoona amannya g’abalala nga bayita ku mikutu gya yintaneti. Ven Jonathan Kisawuzi yavumiridde abawasa abakazi abasukka mw’omu n’akuutira Abakristaayo okwewala okwonoona eri Katonda ng’omubala gw’Obulabirizi ogw’omwaka guno.

Rev. Samuel Muwonge akulira ekitongole ekibuulira enjiri e Namirembe yakuutidde abantu okukomya okuzanyisa Katonda nga bamugezesa obusungu bwe olw’ebikolwa ebitali bya butuukirivu bye bakola. Yakuutidde abantu okuteeka obulamu bwabwe eri Katonda n’ensonga zaabwe zonna kubanga Mukama talemererwa. Barbara Katende Kivumbi, omusomesa w’ebyobusuubuzi n’amateeka e Makerere yakubirizza abantu okukozesa ssente ze bafuna okwetandikirawo emirimu egy’enjawulo basobole okufuna ku ssente.

Yagambye nti ensonga ezisinga okutabula abafumbo ziva ku ssente n’akuutira abafumbo okuteekawo bizinensi y’amaka gaabwe kino kibayambe okufuna ssente ezimala era kikendeeze ku butabanguko mu maka. Yakuutidde ababuulizi b’enjiri okusomesa abantu okwekolera n’okuteekerateekera obulamu bwabwe obw’omu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’