TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Bombers beyanjudde e Lugogo okwetegekera eza Africa

Aba Bombers beyanjudde e Lugogo okwetegekera eza Africa

By Musasi wa Bukedde

Added 13th May 2019

Aba Bombers beyanjudde e Lugogo okwetegekera eza Africa

Dab2 703x422

Abakubi b’ebikonde 40 ku 62 abaayitibwa be beeyanjudde leero e Lugogo okutandika okutendekebwa nga beetegemera emizannyo gya All Africa Games egitegekeddwa e Morocco nga August 19 – 31 2019. 

Wabula ttiimu etendekeddwa mu kisaawe abagiddukanya ne beevuma ekibiina kya NCS ekiremeddwa okubawa okukusa okutendekerwa mu jiimu kubanga baagipangisa musigansigo.

Ye omu ku batandesi Kabuye Edrisa  akubirizza abazannyi Abasiraamu nti beesonyiwe ekisiibo mu kutendekebwa waakiri banaasasula kubanga tebajja kusonola kujjayo talanta nga bazannya bayala. 

Abatendesi mukaaga ne basoose okuyitibwa okubangula abazannyi bano abakazi n’abasajja.  “Tusuubira abazannyi okweyanjula bonna enkya ku Lwokubiri kubanga abamu bava wala”, omutendesi omukulu Patrick Lihanda bw’ategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....