TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kitatta omusango gw'okusangibwa ne mmundu gumusse mu vvi

Kitatta omusango gw'okusangibwa ne mmundu gumusse mu vvi

By Joseph Makumbi

Added 13th May 2019

Kitatta omusango gw'okusangibwa ne mmundu gumusse mu vvi

Tip2 703x422

Kitatta ng'atuyanira mu kaguli olw'aleero

KKOOTI y’amagye esingisizza eyali omuyima w’akabinja ka bodaboda 2010, Hajji. Abudallah Kitatta emisango ebiri egyokusangibwa n’emmundu n’amasasi ataano mu bumenyi bwamateeka neemweggyereza emirala ena.

Munaana ku baabadde avunaanibwa nabo kkooti ebeggyerezza neebalagira bagende ate omukuumi we, Ngobi Sowali bamusingisizza emisango ebiri egyokusangibwa n’emmundu mu bumenyi bwamateeka.

sentebe wa kkooti wmagye ndrew utti ngatuuse mu kkooti okusala omusango gwa itattaSsentebe wa kkooti w'Amagye Andrew Gutti ng'atuuse mu kkooti okusala omusango gwa Kitatta

Kitatta atunudde mpwangali naasoberwa yenna naatuyana entuuyo nga bwezikala nga kkooti emusingisa emisango. Yazze ku kkooti nga yenna awaga era yasoose kutoolera bantu be Salamu. Yabadde asibiddwa ku mpingu emu ne musajja we Ibrahim Ssekajja nga mu mukono ogwa kkono akutte akatabu aka kiragala n’akalaadi Abasiraamu kebasoma nga basaala.

 sentebe wa kkooti ymagye ndrew utti ngasoma emisangi gya itatta Ssentebe wa kkooti y'Amagye Andrew Gutti ng'asoma emisangi gya Kitatta

Kkooti yaluddewo okutandika ng’abakungu abatuula ku kakiiko kayo akalamuzi bakyali mu kafubo nga beegeyamu.

Yatandise obudde bugenderedda ku ssaawa 5:55 ezokumakya Ssentebe waayo, Lt. Gen. Andrew Gutti naasomera Kitatta ne basajja be engeri omusango gyegutambuddemu okuva lwegwatandika, obujulizi bwonna oludda oluwaaaabbbi bwerwaleeta n’abajulizi abaalumiriza Kitatta. Yagaseeko n’ebyo eby’oludda lwa Kitatta byerwawayo mu kwewozaako.

Gutti yagambye nti, looya wa Kitatta, Shaban Sanywa yasaba olukusa okuva mu kkooti okufuna akatambi akalaga ebyaliwo nga Kitatta akwatibwa nebalumuwa wabula akatambi teyakaleeta era Kitatta bweyali yewozaako, tewali katambi konna kaalagibwa.

 ba amire ya itatta nga bakulukusa amaziga mu kkooti Aba Famire ya Kitatta nga bakulukusa amaziga mu kkooti

Yagaseeko nti, ku ky’emmundu okutwalibwa ew’omukugu wa Gavumenti mu bibaluka okwekebejja oba ddala ezaaletebwa mu kkooti mmundu, yagambye nti, buli atuula mu kkooti y’amagye mukugu ekimala okwawula emmundu ku kifaanana emmundu.

Oluvannyuma, Gutti yasomedde Kitatta ne basajja be emisango egibadde gibavunaanibwa gumu ku gumu okuli okusangibwa n’emmundu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jodan111 220x290

Dortmund enywezezza Sancho

Dortmund eyongedde Sancho endagaano n'emuweerako n'omusaala omusava.

Rashford111 220x290

Atendeka ManU agobye Pogba mu kukuba...

Solskjaer agamba nti Rashford y'alina okusooka okwesimba mu peneti za ManU ng'omuzannyi omulala tannagyesimbamu....

Buchanan asimbiddwa mu Kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...

Kanso1web 220x290

Olutalo e Nakawa; Bakansala ne...

AKALEEGA bikya akali wakati wa meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo ne bakansala kasinze kwetooloolera ku nsonga za...

Buchanan asimbiddwa mu kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...