TOP

Omugenzi Bagunywa akoleredde Obuganda - Kabaka

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2019

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akubagizza ab’ehhanda n’emikwano gy’eyali minisita w’e Mmengo omugenzi Arthur Bagunywa n’atendereza emirimu gy’alese akoledde Buganda.

Wemu 703x422

Mu bubaka obwasomeddwa omumyuka wa Katikkiro asooka Hajji Twaha Kawaase mu Lutikko e Namirembe eggulo, Kabaka yayogedde ku mugenzi ng’omusajja akoledde Obuganda naddala mu kujjumbira okutumbula olulimi Oluganda bwe yali mu kibiina kya UNESCO.

Ssaabasajja era yategeezezza nti Bagunywa yaweesa Buganda ekitiibwa era yayagala Obwakabaka ne Nnamulondo n’ategeeza nti Obuganda bumusaaliddwa nnyo.

Yasaasidde abooluganda lw’omugenzi okuli minisita Florence Bagunywa Nkalubo, Omulamuzi Julia Ssebutinde n’asaba omutonzi abagumye.

Okusabira omugenzi kwakulembeddwaamu Ddiini wa Lutikko Canon Benon Kityo nga kwetabidwako Nnabagereka Slyvia Najjinda, Namasole Margaret Siwoza, Abalangira n’Abambejja, omumyuka wa Katikkiro wa Buganda asooka Hajji Twaha Kawaase n’abakungu okuva mu Gavumenti y’e Mmengo ne bannabyabufuzi bangi.

Omulabirizi wa Central Buganda, Michael Lubowa mu kwogerako eri abakungubazi yagambye nti omugenzi Bagunywa abadde omusajja ow’amaanyi mu kkanisa atali mwangu kuzzaawo.

Mulekwa Florence Bagunywa Nkalubo yayogedde ku kitaawe ng’omuzadde abadde tasangika era n’amutendereza olw’okubakolerera n’abalekera omukululo ogubayambye okufuuka kye bali.

Yeebazizza abantu bonna ababadde nabo mu kiseera kino n’asiima mu ngeri ey’enjawulo Nnabagereka gwe yayogeddeko ng’omuntu abaddewo ku lwa kitaabwe mu mbeera yonna w’abeeredde nga mulamu.

Florence Bagunywa ne banne era beeyamye nga bwe bagenda okwetikka omulimu gw’okulaba nga bawandiika ekitabo ekikwata ku Buganda kubanga kitaabwe watuukidde okufa abadde alina enteekateeka y’okukiwandiika.

Mu balala abaakungubagidde omugenzi kwabaddeko Bannalotale omugenzi mwabadde mmemba, abakkwaya ya Nyonza, abakkwaya ya Lutikko nga bonna omugenzi bamwogeddeko ng’omusajja abadde omukozi.

EBIKWATA KU MUGENZI

Omugenzi Arthur Musisi Bagunywa yafiiridde ku myaka 91 mu ddwaaliro lya Platinum ku Buganda Road mu Kampala.

Omugenzi ajjukirwa nnyo mu kuba omusaale mu kulwana okuzzaawo Obwakabaka era mu 1993 Kabaka yasiima n’amulonda okubeera minisita w’ebyenjigiriza oluvannyuma n’alondebwa okubeera minisita wa Gavumenti ez’ebitundu ne minisita ow’ebyobuwangwa okutuusa bwe yawummula.

Yaliko ssentebe w’ekibiina ky’olulimi Oluganda okuva 2002- 2011.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ramos4542051 220x290

Ramos mukoowu mu Real

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...