TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muyambe abantu abatalina mwasirizi na busobozi - Hajji Kamoga

Muyambe abantu abatalina mwasirizi na busobozi - Hajji Kamoga

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2019

Hajji Muhammadi Kamoga owa Kamoga Property Consultants wamu ne famire ye beetabye mu misinde gy’okusondera abantu abatalina busoboozi okusobola okufuna ebyetago byabwe wamu n’okusobola okusibulula abo abatalina busoboozi.

Pamba1 703x422

Bano babadde ku Lukhuman Primary School erisangibwa e Bwebajja era ng'ono n'abamu ku beewuwe okuli omukyala n’abaana beetabye mu misinde gino.

Kamoga yategeezezza nti ng'oggyeeko okwetaba mu kusondera essomero ssente, okudduka kiyamba nnyo omuntu okubeera fiiti.

Ono teyakomye ku kudduka buddusi wabula yajunye n'enteekateeka y'emisinde gino, bakira buli ava okudduka afuna omunwe gw'eryenvu, amazzi kw'ossa ne okubayambako okuweweeza emimiro. 

Oluvannyuma abeetabye mu misinde ne bamalako baawereddwa emidaali, era olunaku ne luggwa.

Ssente ezaavudde mu mu misinde zigenda kubera nga ziyamba abasiibi abatalina byakusiibulukukirako wamu naabo abali mu bwetaavu.

 

Muhammadi Kamoga owa Kamoga Property Consultants wamu ne famire ye betabye mu misinde egy’okusondera abantu abatalina busoboozi okusobola okufuna ebyetago byabwe wamu n’okusobola okusibulula abo abatalina busoboozi. Bano babadde ku Lukhuman Primary School erisangibwa e Bwebajja era nga ono nabantu abamu abewuwe okuli omukyala n’abaana balabibwako nga badduuka era yategezeza nti nga oleese okusonda ssente emisinde gyino gyiyamba omuntu okubeera “Fit”. Bakiira abaana wamu n’abasomesa kwosa nabazadde abalala nabo badduuka wabula nga buli amaliriza okudduka atuuka afuuna munwe gwa lyenvu,amazzi kwosa ne gulukoosi okusobola okweweweza n’okwekulisa emisinde. Oluvanyuma abetabye mu misinde nebamalako bawereddwa emiddali,era olunaku neluggwa nga ssente ezavuddemu mu misinde zigenda kubera nga ziyamba abasibi abatalina byakusibulukuka nabo abalina obwetavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo